Emmere kintu kya mugaso nnyo mu ebyo ebiteekebwa mu kulunda enkoko era nkulu nnyo mu kusalawo okuyitimuka kwa ffaamu y‘enkoko.
Nga otabula emmere y‘enkoko, bw‘oba okimanyiiko kitono oba nga entabula togimanyiddeeko ddala, osobola okutabula emmere erimu ebirungo eby‘obutwa mu kutabula emmere ennyangu oba eteri u mutindo. Bw‘oba otabudde emmere eteri ku mutindo, enkoko ezibiika tezijja kubiikira mu budde era zijja kubiika amagi matono, so nga ate ez‘ennyama tezijja kufuna buzito kw‘oyinza okuzitundira mu bbanga lya wiiki mukaaga.
Ebirungo ebibeera mu mmere
Mu kutabula emmere, ebirungo eby‘enkukunala ebyetaagisa mulimu kasooli ow‘okuziwa amaanyi, ccacu (ow‘engano oba kasooli) okukola nga ebiwuziwuzi (fibre) ebyetaagisa ennyo mu kukuba emmere n‘emmere ezimba omubiri nga eva mu bimera okusingira ddala ssoya. Kyokka ekiyinza okukola nga ssoya mu kuleeta emmere ezimba omubiri ye entungo naye kikubirizibwa nti entungo ekozesebwe bantu abalina obukugu kubanga entungo zijjudde butto, ekyongera obungi bwa butoo mu mmere y‘enkoko era singa emmere eyo eweebwa enkoko ez‘amagi, eyongera ku bungi bw‘amasavu olwo ezibiika ziba tezijja kubiika.
Nga okozesa ssoya ng‘emmere eva mu bimera ezimba omubiri, kakasa nti asiikiddwako oba afumbiddwa kubanga ssoya omubisi alimu ebirungo ebikendeeza ekiriisa (cytokinins) era biyinza okubeera eby‘obutwa eri ebinyonyi.
Osobola okukozesa ebikanja by‘entungo bye bamaze okukamulamu butto, oba ebikanja by‘ensigo za ppamba ze bazmaze okukamulamu butto, era bwe biba bikozeseddwa, kakasa nti biggiddwako akakkuta kubanga ekikuta ky‘ensigo za ppamba kirina ebirungo ebikendeeza ekiriisa ebyegatta n‘ebiriisa ne bibibuza enkoko ne zitabifuna oba ne bifuuka bya butwa.
Osobola era okugattamu mukene/ebyennyanja ebisekuddwa newankubadde si birungi kuwa nkoko z‘amagi kubanga bireeta akasu ak‘amaanyi mu magi bwe biba bikozeseddwa mu bungi ate era bikendeeza ebbanga amagi lye gayinza okumala nga gaterekeddwa olw‘ekirungo ekingi ekizimba omubiri.
Ekisemba, weetaaga layimu. Emmere bw‘eba ya nkoko z‘amagi, weetaaga ekipimo kya bitundu bisatu ku buli kikumi, ku nkoko ez‘ennyama weetaaga ekipimo kya kitundu kimu n‘obutundu butaano ku buli kikumi so nga ku bukoko obuto weetaaga ekipimo kya kitundu kimu n‘obutundu busatu ku buli kikumi. Layimu wa mugaso nnyo eri enkoko ezibiika.