Okubikka ettaka nkola nkulu mu kulabirira ebirime n’emiti naye zino z’ensobi ezitera okukolebwa abalimi mu kubikka ettaka.
Ensobi esooka abalimi gye bakola kwe kubikka ettaka kumpi nnyo n’enduli y’omuti. Okuteeka ebibikka ettaka okumpi ennyo n’enduli y’omuti tekikubirizibwa kubanga emiti gy’ebibala tezifuna mirandira ku ndokwa noolwekyo ebibikka ettaka birina okuteekebwa walako okuva ku nduli y’omuti kubanga awo emirandira we gikwatira.
Okuvunda kw’enduli y’omuti
Okubikka ettaka okumpi n’enduli y’omuti kireetera enduli okuvunda ate nga buno bulwadde buzibu bwakujjanjaba. Kino kiragibwa ng’ebikoola binogoka ne bigwa wansi, ebikoola bitandika okufuuka ebya kyenvu olw’okukendeera kw’ekirungo kya nitrogen era omuti gujja kutandika okuwotoka okuva waggulu ppaka wansi oba okuva wansi ppaka waggulu okusinziira ku bunnyikivu bw’embeera.
Kino kisobola okwewalibwa ng’osika ebibikka n’obisembeza nga inch emu oba bbiri okuva ku nduli y’omuti okukakasa nti enduli y’omuti tennyikiramu mazzi.
Ensobi endala ezikolebwa mu kubikka ettaka
Ensobi endala abalimi abatandika gye bakola kwe kubikka ettaka waggulu nnyo inch nga ttaano ku mukaaga. Kino kyongera ku mikisa gy’okuvunda kw’enduli y’omuti kubanga ebibikka ettaka bisemberera enduli y’omuti ne bw’ogezaako okubisikawo.
Ebibikka ettaka ebirungi birina okuba nga inch ssatu waggulu era kino kiyamba okukuuma obunnyikivu bw’ettaka, kiyamba okukuuma ettaka, kisobozesa omuti okufuna obudde obumala obw’okukaliramu okwewaza enduli y’omuti okukala.
Ekika ky’ebibikka ettaka ekikozesebwa y’emu ku nsobi abalimi abatandika n’abakugu gye bakola. Olw’ensonga nti ebibikka ettaka ebikolerere ebya pulasitiika birina ebirangi era bwe bitemebwatemebwa mu budde bwabyo eby’omugaso, bikomekkerera biri mu muti n’ettaka ekikosa ettaka nga ate ebibikka ettaka mu butonde birina kukuuma ttaka.