Kasooli mmere nkulu, era eriibwa nnyo. Kasooli ali kumutindo ogw‘ansi aviirako emiwendo emitono .Wabbula kasooli aterekebwa mu stoowa okusobola okukakkasa nti abeera wo mu bujjuvu mu mwaka obutasuula katale ke.
Kirungi nnyo okuteeka nitrogen mu ttaka nga tonatandika kusiimba nekumutendera ng‘ensigo zikuze kubanga yetagibwa mu bungi. Ebigobererwa mu kutereka kasooli byebino, ebbanga ery‘omutereka, obungi bw‘amazzi mu mpeke ku mutendera gw‘okukungula,obungi bwa kasooli gw‘okungudde, akatale n‘ekika ky‘entambula ne Sitoowa eyisa empewo obbulungi. Kasooli alina okukazibwa nasigaza obungi bw‘amazzi bwa kipimo 13% era kozesa ettundubaali eriyonjo.
Ebigoberebwa mu kulima kasooli
Sooka okabale ettaka okusobola oligoonza n‘okwewala endwadde ezikwata ku mitendera ez‘enjawulo. Olyoke osige ensigo ezekkanyiziddwa abakugu mu kiseera ky‘enkuba era ogoberere amabanga agakulagiddwa.
Mu kugattako, lima mu omuddo oguteetagibbwa wakaati wa wiiki 4-5 okusobola okukendeeza ku kuvugannya kw‘ebiriisa wakati w‘omuddo n‘ekimera ngaa wofuuyira ebirime eddagala okusobbola okutta obuwuka awamu n‘okukungula mu budde, tereka kasoooli okusobola okwewala okufiirizibwa era olondemu obukyafu okusobola okukuuuma omutindo ,Oluvannyuma longosa stowa era ogifuuyire eddagala nga tonaba ku kungula okusobola okutta obuwuka era totereka kasooli mu sitoowa erimu e bbuggumu eringi okusobola okukuuma omutindo .
Okwongerako, kasooli mujeeko enfuufu nga tonamutereka, tabula eddagala erita obuwuka okuziyiza okutaataganyizibwa kw‘obuwuka era omutereke mu sitoowa eyingiramu empewo obulungi okusobola okukuuma ebbugumu eddungi . Sitoowa zirina okuba nga nnene okusobozesa okulambula ,okulongosa enfuufu n‘okuyingiza empewo obulungi. Wabula era tewerabbira ku mutereka ku kibaawo okusobola okumuziyiza okukukula .
.Okusobola okuziyiza obuwuka okuyingira sitoowa ,sala omuddo ogwetolodde sitoowa era oteeke wo ebyeyaambisibwa okukwata emmese zireme okuyingira mu sitoowa
Mu kumaliriza kozesa ettuundubaali ,kasooli mukongole bulungi, empeko zijjeeko bulungi enfuufu, mutereke mu nsawo ezikoleddwa mu kigoogwa,kasooli mutereke mu sitoowa aleme okummerako obutwa mu kasooli obuyitibwa Aflatoxins.