Abalimi bwebatereka ensigo ya sizoni eddako, ebiseera ebimu babeera n‘ensigo nga zamutindo mubi olwokukosebwa ebiwuka n‘endwadde . N‘olwekyo bwonnyika ensigo zino wamu, enfu zidda kungulu, kakasa nga ozijjako osigaze ennamu .
Okwongera ku mutindo gw‘ensigo kyamugaso naddala ng‘oyagala okweyambisa ensigo ezizo. kyamakulu okutandika amakungulago n‘ensigo ennungi – ennamu. Okumanya nti ensigo yo yalumbibwa ebiwuka ne‘ndwadde, bwogulawo ekintu mwewatereka olaba ebiwojjolo nga bibuukamu era osobola okulaba obutuli bwebiwuka kunsigo. Ensigo ezirumbiddwa oba ezitayengedde bulungi zitera okuba empewufu bwogeragerana n‘ensigo ennamu era kibakyangu okuzejjako
Okwawula ensigo ennamu kunfu
Yonja ensigo ng‘owewa mukintu osobole okujjamu ensigo zonna ezirimu ebituli. Oluvannyuma teeka ensigo zino mu mazzi olabe ziriwa ezitabbidde n‘ebissusunku ko n‘enfuufu w‘ebiraze naye era tosobola kulaba nakwawula nsigo zikoseddwa ng‘ozitadde buteesi mu mazzi. Okusobola okujjamu buli nsigo nfu oyina okukozesa amazzi mangi .
Yonja kyogenda okunnyikamu (container) ensigo, era okijjuze amazzi. Bwomala gattamu omunnyo ne urea. Okumanya nti otaddemu ekimala ssamu eggi olabe oba nga litengejja ku mazzi .Ssaamu ensigo mumazzi gali agatabuddwa otabuze n‘engalozo. Kino bwekiggwa buli nsigo nfu etengejja ku mazzi. Ensigo ennamu zisigala wansi muntobo yeekyo kyonnyiseemu .
Jjamu ensigo enfu oziwe ebinyonyi. Bwekiggwa jjamu ensigo ennamu ozooze namazzi amayonjo emirundi ebiri kw‘esatu .
Osobola okulekawo amazzi agalimu omunnyo n‘ogeeyambisa okufukirira emiti gyebinazi. Amazzi gano bwegabaamu urea osobola okugeeyambisa ku mmerusizo.