Okuyita mu nnima y‘ebijanjaalo ennungi n‘enkola z‘okulima ennungamu, ebijanjaalo bingi bisobola okulimibwa nga bya mmere ne ssente kubanga ebijanjaalo bya makulu mu kuwa emmere n‘essente eri abalimi ne famire.
Wadde ensigo ezikakasiddwa za bbeeyi, zimera mangu era zongera ku makungula. Kya mugaso okusimba ebijanjaalo mu nnyiriri ng‘ennimiro emaze okutegekebwa okugeza okugiyonja, okukabala n‘okuseeteeza: Simba ku bugulumu ng‘okozesa obuti bungi okuwanirira omuguwa ku nnyiriri. Okwongera ku makungula gobereranga ekigero ky‘ekigimusa ekirambikiddwa okusinziira ku kika ky‘ettaka n‘omuddo.
Okusimba mu nnyiriri
Kozesa ensigo ezikakasiddwa kubanga kino kyongera ku kumera kw‘ensigo, zikendeeza endwadde, zongera ku magoba era n‘ensigo ezikozesebwa ziba ntono. Era simba ebijanjaalo mu nnyiriri okukendeeza mukoka, okuvuganya ku birungo, kiyamba okuzuula amangu ebitonde ebyonoona ebirime n‘endwadde era kikendeeza ne ku mirimu. Kozesa omugatte gwa UREA, DAP n‘ebigimusa bya kalimbwe okwongera ku makungula. Ggyamu omuddo mu nnimiro emirundi esatu kwe kugamba wiiki ssatu oluvannyuma lw‘okusimba n‘emirundi ebiri buli luvannyuma lwa wiiki bbiri.