»Ennima y‘amapaapaali- Enambika enzijjuvu | Engeri y‘okulimamu amapaapaali«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=-8TI0O1mvOY

Ebbanga: 

00:04:09

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Discover Agriculture
» Mu katambi kano tujja kukuwa obubaka obujjuvu nga bukwata ku nnima y‘amapaapaali«

Nyika ensigo okumala ennaku wakati wa 3-5,okyuse amazzi buli lunaku era osige ensigo emu mu buli kinnya mu buwanvu obw‘ekigero ku nsigo ebbiri naye tozisiga mu kinnya kiwanvu nnyo.

Endokwa zisimbe mu kayumba aketoolozeddwa akatimba akalungi okusobola okuzikuuma okuva eri ebiwuka ebizirya era obikeko ekiveera singa enkuba eba etonye nnyo.

Simbuliza endokwa mu kiveera mu nnaku 14 oluvanyuma lw‘okuzisiga. Nyiga ettaka oluvanyuma lw‘okusimbuliza era geraageranya amabanga agaweza cm 10 ku 10. Endokwa ziba zituuse okusimbuliza mu nnaku 45 oluvanyuma lw‘okusiga.

Fuba okulaba nga okuuma amazzi okuyita mu lunaku era weewale okufukirira mu budde obw‘olw‘eggulo

Enteekateeka y‘ettaka n‘okusimbuliza

Ettaka erikabaddwa obulungi n‘emmerezo engulumivu liyamba okukuuma emirandira nga miggumu n‘okukula kw‘ekimera okulungi mpozzi n‘okuyamba amazzi okunyikira obulungi ne kigaziyiza okulegama.

Tegeka ebinnya eby‘okusimbamu ebirina cm eziri wakati wa 10 ne 15 ku buli kimera nga si biwanvu nnyo ate era nga si bimpi nnyo era ozimbulize mu ttuntu.

Simba omuti gwa mapaapaali mu mita 2.5 ne 3 ku buli lunyiriri ne mita 3 ku buli muti era ofukirire amangu ddala nga wakasimbuliza.

Okufuna amakungula ageegasa

Obungi bw‘ekigimusa ekikakasiddwa kisinzira ku obungi bw‘ekimera, Tabula era ofuyire bulungi, yambala engoye ezikutangira era onabe mu ngalo bulungi oluvanyuma fuyira omuddo ogukulira wansi ekimera kisobole okukula obulungi.

Okukabala obulungi ettaka, endokwa ennamu, amabanga amatuufu,okukuuma obunyogovu mu ttaka, okwewala amazzi okulegama, okukozesa ekigimusa ekituufu n‘eddagala eritta ebiwuka ebyonoona ebirime okufuna amagoba amangi.

Manya ebiwuka ebyonoona ebirime n‘endwadde ezitawanya amapaapaali. Kozesa emitego egikozesebwa okukwata ebiwuka okukendeeza ku bungi bw‘obusowera obutawaanya ekibala(fruit fly), gyamu ekimera ekirwadde oba ekibala okuziyiza ebiwuka ebirya ekimera n‘okuziyiza okusaasaana kwa kawuka.

Enkola ez‘okukungula

Ebibala biba bituuse okukungulwa wakati wa myezi 6 ne 7 oluvanyuma lw‘okusimbuliza. Okukungula kusobola okukolebwa wakati w‘essaawa ssatu ez‘okumakya paka ku ssaawa mwenda ez‘olw‘eggulo okukendeeza ku masanda obutatonya kuba gayinza okwonoona ekikuta ky‘ekibala.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:14Nga tonasimba n‘okulima endokwa
01:1502:00Enteekateeka y‘ettaka n‘okusimbuliza
02:0102:46Okukozesa ebigimusa n‘engeri entuufu ey‘okukozesa eddagala eritta ebiwuka ebyonoona ebirime.
02:2703:18Ebiwuka,ebiwuka ebyonoona ebimera n‘endwadde ezitawaanya amapaapaali n‘okukakasa nti ofuna amakungula amangi
03:1903:40Okukungula n‘ebikolebwa oluvanyuma lw‘okukungula
03:4104:09Mu bufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *