Obuwuka obuyitibwa Aphids bubeera budugavu oba bwakiragala. Mukunuuna omubisi mu bimera ,kiretera ebimera okukula empola. Era butambuza endwadde eziretebwa obuwuka .
Aphids gye bubeera
Obuwuka bu Aphids bubeera mu bibinja. Mu kitangala ky‘omusana, era buzimba wansi w‘ebikoola. Obuwuka bunno webukula ,ebumu bufuna ebiwawatiro okusoboola okusasaana mu kifo. Obuwuka bwa Aphids bufulumya amazzi agawomerera era amazzi ganno gayitibwa ‚“honeydew“. Enswa zirya ku mubisi gunno era zisobola osangibwa ku bikoola. Obuwuka bu aphids bubeera tebukyasobola kunuuna mubisi mu bikoola .Era bunno bulwaza bijjanjalo n‘enva endiirwa okusinga. Ebimmera ebirala mulimu emboga ne biti rutu ,(“ beet root“).
Okwewala obuwuka bunno.
Lambula ennimiro yo osobole okuzuula obuwuka bunno. Butte nga okozesa engalo zo ng‘obunyiga. Teekawo evvu eritayokya ku makya , suulwe asoboole okubukwasa ku bikoola. Kozesa evvu ly‘ensekeseke z‘omuceere oba ely‘enku.Tokozesa evvu ly‘endagala,ebikoola by‘emitti ,amabanda n‘ebikoola by‘enva endiirwa tebibusobola.
Osobola n‘okweyambisa amazzi agalimu sabbuuni. Teeka sabbuuni mu mazzi paka wagwerera. Gafuyire ku bikoola omulundi gumu okumaa ennaku ssattu. kozesa ebikola by‘enniimu ebisekule okusobola okwewala obuwuka bunno. Tabula kilo bbiri ez‘ebiikoola by‘enniimu ebisekuddwa n‘amazzi ga liita kumi namukaaga . Fuyira omulundi gumu okumala ennaku ssatttu.
Simba entungo ne kaliidaali okumpi n‘enimiro yo.
Ebivvuvumira bijja kusikirizibwa birye obuwuka obwo(aphids).