Olumala okukungulu, omutindo gw‘ennyaanya gugenda gukendeera. Enkwata ennungi mu makungula ne mu kutambuza kitegeeza kinene eri amagoba amangi (kyongera ku magoba).
Ennyaanya ez‘omutindo zitandika nabanozi balungi. Nnoga ennyaana kumakya ng‘obudde bukyali bunnyogovu okuziyiza okwononeka kwennyaana. Bwonkungula, noga bulungi nga bwowummuza n‘obwegendereza mu bisero. Tokanyuga nnyaanya. Tereka ennyaanya mu kisikirize bwomala okuzinoga.
Okutambuza ennyaanya
Kisingako okweyambisa kkuleeti e‘za ppulaasitiika (prastic crates) bwoba nga weeyambisiza ebisero bibikekko okwewala okuzoonoona. Wewale okupanga ebisero kimu kukinnewakyo okutaasa ezisooka wansi. Tereka kkuleeti mukisiikirize, wewale oziwummuza obutereevu ku ttaka n‘ekirala tosiiga nnyaanya ttaka.
Ssooka olonde ennyanya oyawulemu ezonoonese n‘ezaatise nga tonnazitambuza. Kati olwo zipakire n‘obwegendereza. Tambuza ennyaanya mu kiro oba mu makya eenyo ng‘ebbugumu likyali wansi.
Okukungula ennyaanya
Okukungula ennyaanya kusinziira ku bwetaavu obuli mu katale buyinza okuba nga bwa bwangu oba nga busobola okulindako.
Ku katale akembagirawo (obwetaavu obwobwangu), kungula ennyaanya emyuse. Akatale akali mu maasoko, tabula emyufu neezo ezitandikiriza okwengera.