Gyokoma okukozesa ebigimusa ebikolerere n‘eddagala eryeyambisibwa mu kutta omuddo byongera okwonoona ettaka n‘okutta obuwuka obw‘omugaso mu ttaka. Enkumbi ziyikula ettaka nnyo eggimu ne lidda wansi olwo eritali ggimu ne lidda waggulu olwo ettaka ne likattira bulungi.
Mu ngeri eyo ettaka lyonoonebwa ne litandika okukaluba ekivirako emirandira obutawaganya mpozzi n‘ebimera obutameruka bulungi. N‘olwekyo enkumbi yeyambisibwa okukuba amafunfugu nga egamenyamenya okufuuka ettaka.
Emiganyulo gy‘enkumbi emenyamenya amafunfugu.
Enkumbi esibibwa ku nsolo nezikozesebwa okumenyamenya amafunfugu okufuuka ettaka. Zirima paka mu buwanvu bwa 15 cm zokka era tezikozesa mafuta ekibeera ekirungi eri obutonde.
Enkumbi emenyamenya eyinza okukozesebwa okutegeka emmerezo n‘ennimiro ku kika ky‘ettaka kyonna n‘ekimera kyonna ku ttaka eritalimiddwa oba oluvanyumya lw‘okuliteekateeka. Ettaka erirana ekikula ekirungi liba n‘obutuli obutereka amazzi obulungi ageyambisibwa mu kukula kw‘ebimera.
Enkumbi emenyamenya eyembako obutamala budde n‘amaanyi mu kulabirira ebimera ebitetaagibwa mu nnimiro kubanga bibeera bitukibwako akasana kangi ekibiretera okufa .
Kola enkumbi emenyamenya amafunfugu.
Eno ekolebwa mu muti omuggumu endoddo ey‘ekipimo kya esalibwa mu bugazi nga mu buwanvu ya mita 1 era ekikuta kigyibwako n‘ekolebwa bulungi.
Ebiti ebiseteevu obulungi bibiri bisalibwa nga birina obukwafu bwa 8cm n‘obuwanvu bwa miita 1, ekiti eky‘omu makati kisalibwa mu bugazi bwa 2cm ku 4 n‘obuwanvu bwa 5 ku 10 cm. Obubaawo obukoleddwa gye busembera teekako akuma akalina obugazi bwa 5 ku 3 cm mu bunya obunene obutekeddwamu okusobola okukiyamba okwetoloola obulungi .Teekako endoddo ez‘enjawulo nga ziweza obuwanvu bwa miita 2 n‘ebbanga lya 8 cm mu makati okusobola okugattibwa awamu.
Enteekateeka y‘ettaka
Enkumbi emenyamenya ekozesebwa abantu babiri oba ennume bbiri nga zisika ekiti wabula kulina okubako atudde ku kiti. Wano osobola okugikozesa wakati w‘emirundi 4 ku 6 olunaku mu mmerezo yo mu bifo eby‘enjawulo.
Okuteekateeka ennimiro vuga enkumbi eno wakati w‘emirundi 3 ku 5 mu nnimiro okuva ku ludda olumu okutuuka ku lulala.