Obulwadde bwa ssennyiga omukambwe bukosezza eby‘emmere bya Kenya. Butereevu okuyita mu kukosa ensaasaanya y‘emmere n‘obwetaavu n‘obutali butereevu okuyita mu busobozi bw‘okulima n‘okubunyisa emmere.
Enkuuma y‘emmere kitundu kikulu nnyo ku kubeerawo kw‘emmere emala, ekitongole ky‘ebyobulimi n‘obulunzi kikubiriza enkola zookulima ennungi n‘emmere ennungi wamu n‘enva endiirwa. Eddagala erikozesebwa mu kulima ly‘eddagala erikozesebwa mu kulima okukuuma ebirime obutalumbibwa bitonde ebyonoona ebirime n‘okubisobozesa okukula obulungi. Muno mulimu eddagala ly‘ebitonde ebyonoona ebirime, eddagala eritta omuddo ogwonoona ebirime n‘ebigimusa. Lya busagwa eri abantu n‘ebitonde ebyonoona ebirime era obwegendereza bwetaagisa mu kuligula, enkwata yaalyo n‘entereka.
Enkola z‘okwekuuma
Tandika ng‘oyambala ovulo olwo oyambale gambuutu, yambala ebigalubindi wamu n‘akakookolo. Sabika omutwe era oluvannyuma oyambale gilaavuzi.
Kakasa nti ovulo ebisse gambuutu okwewala eddagala okutonnya mu bigere, kakasa nti gilaavuzi zibikkibwa munda mu ovulo. Buli kimu kitegeke nga tonnatabula, beera n‘ettaka, ekyera empumbu n‘olweyo singa wabaawo okukulukuta. Pima omuwendo ogulambikiddwa okwewala okukozesa eddagala ettono oba eringi.
Okukungula enva endiirwa
Okukungula kumakya ennyo kwe kusinga eri enva endiirwa ezisinga, omusana bweguba omungi ennyo, ekirime kijja kuba kyawotose era ekyo kizifuula nzibu okuteekateeka.
Kozesa akambe akoogi okwewala okukosa ekirime, akambe akatasala kaleeta obukosefu bungi ku kirime. Lekako lwakiri ebikoola bina, tosalako bikoola byonna kubanga ebirime bikozesa bikoola okukola emmere. Kungula buli kadde, okukungula buli kadde kireetera enva endiirwa okuwooma n‘okwongera ku makungula.