Enkola y’okujawo emiti wamu n’ebisaka ebinene nga weyambisa eddagala esobola okukozesebwa mukulabirira ebibira.
Enkola eno esobola okweyambisibwa okw’ewala ebika by’emiddo egitetaagibwa gyonna, obulamu bwebisolo by’omunsiko bweyongera era nga ekiruubirirwa kwekuwa ebisolo omuddo.
Kino kikolebwa okuyita mukujawo okusakaatira kwemiti omusana gusobole okutuuka kuttaka okusobola okuleetera ebimera okumera. Era kiyamba n’okulemesa ebika by’ebimera ebitetaagibwa okukula.
Ebikozesebwa ebyetaagisa
Okukozesa enkola eno, kyewetaaga kyokka kwekutema embazzi katono okutekawo omusale kumuti era n’ofuuyira ne cupa.
Muddagala erikozesebwa munkola eno mwemuli Imazapyr, Glyphosate wamu ne Triclopyr. Erimu kuddagala lino lisobola obutakola kubimera ebimu yensonga lwaaki oyina okufuna okumannya ddagala ki ery’okukozesa wa nga ofuna okuwabulwa okuva eri omulimisa.
Nga okozesa eddagala, kakasa nti oyambade oby’okwekumisa okugeza nga galubindi, giravuzi, esaati ey’emikono emiwanvu nempale.
Enkola
Okuteeka enkola eno munkola, eteeka ekulu kwekutema akannya 1 kubuli yiinci 2 eza dayameta. Tema akannya okuyita mukikuta okuguka munda. Kino kikakasa nti eddagala linyikide mu muti.
Tema akannya kamu akalungi, gagambula ekikuta okusobola okufuna omuwaatwa era oteeke eddagala mumuwaatwa.
Wewale okukozesa enkola eno ku muti nga gusemberede waya z’amasanyalaze oba ekikomera oba enyumba kubanga omuti gutuuka ekiseera negukadiwa era negugwa.