Kaayongo“ Striga“ gwe muddo ogubba ebiriisa ku birime era gukulira ku ttaaka ebbi. Wabula bwetweyambisa enkola ezenjawulo n‘endabirira ennungi ,ng‘ogaseeko ebikolwa ebikolebwa mu kugimusa ettaka, omuddo gunno gusobola okwewalibwa ddala.
Kayongo (striga)awawalampa emirandira gy‘ekimera nalyoka akinnuuna mu ebirungo n‘amazzi ekiremesa ekimera okukula obulungi era kyangu ensigo zaakyo okutwalibwa mukoka.
Okukyusakyusa ebirime ebigatta ekirungo kya nitrogen ku ttaka n‘ebimmera eby‘empeke kikeendeeza ku muddo gunno era n‘okugukuula ng‘ekimera tekinatuuka ku mutendera gw‘okumulisa.
Kayongo n‘engeri y‘okugimusa
Okusookera ddala, olina okukimannya nti kayongo abeera wo kusobola okutegeera ebikolwa ebikolebwa okwewala. Eky‘okubiri, yongera ku mutindo gw‘ettaka nga weyambisa naakavundira kubanga kikuuma obungi bw‘amazzi mu ttaka n‘okuggimusa ettaka. Mukugattako, tabinkiriza ebirime,kuula kayongo era obeere kubulindalaa ebikolwa binno nga bigatiddwa bikendeeza ku nsasaana y‘omuddo gunno . Ekisembayo , okuziyiza omuddo gunno kifuule nti kisoboka nga weyambisa amannyi g‘abantu nga wegatta ku bibiina by‘abalimi okusobola okwewala omuddo guno nga muziyiza ensasaana y‘ensigo yagwo.