Amaka mangi agalunda enkoko awaka naye obuzibu bwegasinga okusanga bwe bulwadde bw‘enkoko.
Okwewala endwadde kikulu nnyo mu kulunda ebinyonyi era nga kino kisoboka nga okuuma obuyonjo obusembayo. Endwadde zikoseza ddala ebinyonyi kubanga zireeta okufirwa bwoba ozirunda. Okufirwa kuyinza okuba okuffa kw‘ebinyonyi, okwesala ku bivaamu oba sente ezikozesebw amu kujjanjaba endwadde.
Obukodyo bw‘okwewala endwadde
Enzimba y‘ekiyumba ky‘enkoko nkulu nnyo mu kulwanyisa obulwadde. Enkula erina okuba nga ebinyonyi tebirinya mu kalimbwe okugeza okuzimba ekiyumba nga kiri waggulu kalimbwe nga ayitamu naggwa wansi ku ttaka era nagibwawo nga olongoosa.
Okwemanyiza okukozesa enkola eyokumalamu zonna omulundi gumu wetuletera omujiji gw‘enkoko negulindibwa era nezitundibwa zonna olwo endala neziretebwa nga enkadde zonna ziweddemu era nga ekiyummba, ebinywerwamu n‘ebirirwamu byozebwa era nebinyikibwa mu ddagala. Wamu nokusaawo ekkomo ku bagenyi abakyaala ku faamu.
Okugoberera enkola ey‘okugemesa nga ogigenderako nga enkoko ozigemesa obulwadde.
Okukuuma obuyonjo obwawaggulu ku birirwamu n‘ebinywerwamu. Ebirisibwamu nebinywerwamu nga byelongoosa byoka byanguya obutaddugaza mere n‘amazzi.
Okuzekebejja oluberera okusobola okulaba obulwadde nga bukyali. Nga tonatandika kulunda nkoko, kikulu okufuna omusomo ku kumanya obulwadde n‘enzijjanjaba.