Olw‘okubeera ekimera eky‘ettunzi olw‘emigaso gyakyo emingi, okumeza n‘okulima emmwanyi kukosebwa ebintu eby‘enjawulo ebirina obulamu okugeza ekiwuka ekiddugavu ekikuba obutulituli mu butabi bw‘emmwanyi n‘ebitalina bulamu okugeza ettaka obutabeera ggimu.
Ekiwuka ekiddugavu ekikuba obutulituli mu butabi bw‘emmwanyi kiwuka kitono ekirina obuwanvu bwa mmirimita emu oba bbiri, ekiwuka ekiddugavu ekimasamasa ekyakula ng‘eggi ekibeera mu matabi g‘emmwanyi. Ebikazi biyingira mu butabi ne birekamu obutuli obuyinza okuyingiramu ppini.
Okuzuula okubeerawo kw‘ekiwuka kino
Ekiwuka kino kyangu kutegeererwa ku kwengerera kw‘ebikoola n‘okubeerawo kw‘obutuli obutono wansi w‘obutabi, okubeerawo kw‘olufuufu olweru olwetuumye ku butuli n‘obutabi obunafuye.
Ebirala kuliko, okuwotoka, ebikoola n‘endu okufuuka ebiddugavu, okuva ekiwuka we kyayingiride okutuuka ku ttabi erikoseddwa.
Okutangira ebiwuka bino
Waliwo obwetaavu bw‘okulambula ennimiro buli lunaku ekiyamba okuzuula amangu ebiwuka noolwekyo biba bisobola okuziyizibwa amangu. Ggyako ebitundu ebikoseddwa ku kikolo era obyokye okwewala okwongera okusaasaanya obulwadde.
Tumbula obulamu bw‘ekirime nga oteeka ebigimusa mu nnimiro, okufukirira ennimiro era okendeeze ne ku kisiikirize mu nnimiro.
Weewale okusimba endokwa ezirina ekiwuka ekikuba obutulituli mu butabi bw‘emmwanyi.