»Engeri y‘okutabula obulungi n‘okuwa eddagala lya Polyflex (ampicillin omutabule owoomumpiso)«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=_0IoqFy_1Y8

Ebbanga: 

00:03:45

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Boehringer Ingelheim Cattle Health
»OKULABULA KU DDAGALA LYA POLYFLEX: Tojjanjaba nte kusukka nnaku musanvu. Amata agava mu nte ezijjanjabiddwa tegateekeddwa kunywebwa, era n‘okumala essaawa ana mu munaana (enkama nnya) oluvannyuma lw‘obujjanjabi obusemba. Ente teteekeddwa kusalibwa kugirya nnyama nga zijjanjabwa, era ne mu ssaawa kikumi ana mu munnya (ennaku mukaaga) oluvannyuma lw‘obujjanjabi obusemba«

Olw‘okubeera ekimu ku bintu ebikosa obulunzi bw‘ebisolo, obulamu bw‘ekisolo bulagula omutindo n‘obungi bw‘ebiva mu nsolo ebifunibwa mu nsolo.

Nga eddagala lya prolyflex bwe liyamba ente obulwadde obukwata ebitundu ebiyamba mu kussa, litundibwa ng‘obuwunga obwetaaga okutabula n‘amazzi agataliimu buwuka okukola olutabu olw‘okuyisa mu mpiso. Obungi bw‘amazzi obukozesebwa okutabula eddagala businziira ku buka obwetaagibwa.

Okuwa/okukuba ensolo eddagala

Ekisooka, tunula ku kapapula k‘eddagala okufuna entabula erigenderako era nga okozesa empiso empya, sika amazzi agataliimu buwuka, gateeke mu kacupa k‘eddagala lya polyflex era otabulire ddala bulungi obuwunga obwo. Lamba eccupa nga okozesa ennaku z‘omwezi n‘obuka.

Mu ngeri yeemu, siba ensolo nga tonnagikuba ddagala olw‘okwekuuma, obutakutuusaako bulabe, n‘ensolo okubeera obulungi. Nga bw‘olonda empiso entuufu esaanira okukuba eddagala, pima obuzito bw‘ensolo oteeke mu mpiso ekigero ekituufu eky‘eddagala lya polyflex. Laba w‘ogenda okukuba empiso era olwa kino, akasumbuusa triangle mu bulago ke kazinga okwagalwa akabeera wansi w‘ekinywa ekyetoolodde waggulu ku nkizi emabega ku ggumba ly‘ensingo mu maaso g‘eggumba ly‘ekibegabega. Weewale omusuwa gwomubulago n‘obuzimbu bw‘ensanjabavu.

Nga omaze okulabawo, kuba empiso busimba mu ddiba ogyongereyo mu kinywa era oluvannyuma lw‘okukuba eddagala, ggyamu empiso era okozese mpiso ndala ku buli nsolo okwewala obujama okuva ku nsolo emu okudda ku ndala n‘obutwe bw‘empiso obuba butakyafumita bulungi.

Ekirala, lamba ensolo ezijjanjabiddwa era oziteeke mu kiyumba okutuusa ekiseera ky‘okuzaawula lwe kiggwaako. Kuumira eddagala erisigaddewo mu bbugumu lya ddiguli asatu ku ana okulikuuma nga ddamu okumala emyezi ng‘esatu.

N‘ekisembayo, nyeenya bulungi ddala okutabula by‘otaddemu nga okozesa eddagala omulundi omulala era ogoberere endagiriro eragiddwa era okolere wamu n‘omusawo w‘ebisolo.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:17Polyflex atundibwa nga buwunga obwetaaga okutabula n‘amazzi agataliimu buwuka.
00:1800:28Obungi bw‘amazzi agakozesebwa businziira ku buka obwetaagibwa.
00:2900:34Tunula ku ndagiriro y‘omukozi w‘eddagala okufuna ebikwata ku ntabula y‘eddagala eryo.
00:3500:50Sika amazzi agataliimu buwuka ogateeke mu ccupa y‘eddagala lya polyflex nga okozesa empiso empya etaliiko buwuka.
00:5101:03Tabulira ddala obuwunga bw‘eddagala era olambe eccupa nga okozesa ennaku z‘omwezi n‘obuka.
01:0401:13Siba bulungi ensolo nga tonnagikuba ddagala.
01:1401:35Londa empiso entuufu esaanidde okukuba ensolo eddagala n‘obuzito bw‘ensolo.
01:3602:16Sika ekigero ekituufu mu mpiso olabe awatuufu w‘ogenda okugikuba.
02:16702:27Nga omaze okulabawo, kuba empiso busimba mu ddiba era ogyongereyo mu kinywa.
02:2802:39Ggyamu empiso nga omaze okukuba eddagala era okozese empiso empya ku buli nsolo.
02:4002:46Lamba ensolo ezijjanjabiddwa era oziteeke mu kiyumba okutuusa ekiseera ky‘okuzaawula lwe kinaggwaako.
02:4702:56Okutereka eddagala erisigaddewo ku bbugumu lya ddiguli asatu ku ana kirikuuma ddamu okumala emyezi esatu.
02:5703:01Okulikozesa omulundi omulala, nyeenyeza ddala bulungi okuddamu okutabula ebirimu.
03:0203:17Goberera endagiriro ekuweereddwa era okolere wamu n‘omusawo w‘ebisolo.
03:1803:45Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *