Olubalama lw‘omugga lwebunguluddwa ebimera eby‘enjawulo ku mbalama n‘eziriranyewo. Kino kiziyiza mukoka ku mbalama, okubumbulukuka kw‘ettaka erikulukuta.
Kyamugaso nnyo abalimi okukuuma embalama kuba kiziyiza mukoka w‘olubalama, kikendeza amaanyi ku mataba n‘ekigonza obulamu bw‘omulimi nafuna enku, embaawo,emmere y‘ebisolo n‘ebibala bya maka gonna.
Emitendera gy‘okusimba
Simba ebisagazi mu bifo ebisinga okukosebwa amataba n‘amazzi kubanga bikwata n‘ebiziyiza ettaka okutwalibwa mukoka.
Nera simba omuti oguyitibwa grevillea naye tojjuza nnyo nnyo kinnya na ttaka kisobozese amazzi okukungana obulungi.
Simba emiti gyamapeera bwolaba nga embalama z‘emigga giggumye okukola ensiko ennungi okusobola okukuuma ettaka, ebibala bisobola okulibwa ate era givaako enku.
Osobola okusimba amabanda omugga wegusinga okubeera n‘amaanyi amangi okusobola okukendeeza ku mukoka.
Kuuma emiti egisangiddwawo kuba giyamba okukuuma ettaka n‘okukendeeza mukoka.
N‘ekisembayo kuuma embalama z‘emigga ng‘oziyiza omuddo,osala ebisagazi n‘okusala emiti.