Okubeera ekirime eky‘ekiriisa, obwetaavu bwennyaanya mukatale bulijo bweyongera olw‘okukendeera kwazo nga kiva kukugwa kw‘omutindo oly‘enima embi.
Okusimba ennyaanya oyina okugoberera enima y‘ekika ekirondeddwa, ebiseera bw‘okusigiramu n‘ensimba. Mukusimba, obukuubo obutono buyamba mukutambula kwempewo, mukufukirira wamu n‘amazzi obutalegama munnyaanya.
Okusimba ennyaanya
Mukusooka, maansa kilo 8 ez‘ekigimusa kya NPK era ne kilo 3 ez‘ebigimusa by‘obutonde mubuli mita 2 okw‘etoloola emerezo era teekateeka endokwa zakusimba obungi bw‘ebirime bwa 26600 buli yiika nnya era simba mubuwanvu obusaanide oluvanyuma ebiziikibwa, bifukirirwa mpolampola era biteekebwa mu merezo erongoseddwaamu eyina amazzi agamala.
Endokwa ziteekebwa mukasana okusobola okuguma ennaku 4-7 nga okusimbuliza tekunabaawoera zisimbulizibwa oluvanyuma lwennaku 28 kubuwanvu obw‘ekigero mumabanga ga 50cm. Ebimera bifukirirwa era enkuubo zikolebwa wiiki 2 oluvanyuma lw‘okusimbuliza.
Kulw‘amakungula amalungi, waliwo obw‘etaavu bwokweebuuza, okutekamu ebijimusa, okugoberera ebikanyiziddwaako, okulambula ennimiro wamu n‘okugyamu ebirime ebirwadde.
OKukungula ennyaanya
Amakunkula gakolebwa oluvanyuma lwennaku 60 ku 70 nga omazze okusimbuliza naddala ku makya oba akawungeezi era ebikungudwa bitekebwa mukifo ekiyisa empewo obulungi n‘ekisikirize okulinda akatale.