Okusalira kwe kugyako amatabi agatetaagisa okuva ku muti. Kikolwa kya makulu nnyo naddala mu ndabirira y’emiti gy’ebibala.
Okusalira kukuyambako mu kuyunga emiti gy’ekibala egy’enjawulo ku muti gw’ekibala kya apple. Osobola okuyunga n’ofuna ebika bya apple eby’enjawulo ku muti gumu. Mu kukola kino, funa amatabi agakula empola era kino kikole nga osalira mu inch 15 okuva ku ttaka. Kino kiyamba ekimera okumera emitunsi ekireetera amatabi oluvanyuma okugenda oludda gyogagala.
Okuyunga ebika eby’enjawulo ku muti ogumu kikuyamba okukungulira mu bbanga eriwera ddala.
Obukodyo bw’okuyunga emiti.
Kakasa nti amatabi okudda oludda lw’oyagala ogategese bulungi mu kikula ekiwanvuyirivu ekya vase nga weyambisa obuti. Ekikula kino ekya vase kikakasa nti omuti gufuna ekitangaala okugeza gufuna ekitangaala ekimala gusobole okuvaamu amakungula amangi . Ekikula kino era kikakasa nti empewo n’akasana binyikira bulungi n’ekikendeeza ku kulumbibwa kw’endwadde.
Biyunge era obireke okumala ebbanga lya wiiki 3 ku 6 nga obigasse naddala ettabi ly’oyunze ne woyungidde okakase nti obiyunze bulungi. Woyungidde osobola okusibawo nga okozesa akaguwa ka nylon.
Nga omaze okuyunga, olina okusalira. Oluvanyuma lwa wiiki 6 ne 8, salira okuva wansi wewayungidde ne waggulu w’omutunsi gw’oyunze. Mu mwaka ogusooka , tokiriza mutunsi gwoyunze kufuna kibala kuba bweguba gugeze, okuteekako ekibala kuyinza okuviraako wewayungidde okumenyeka.
Kuuma ekifo wewayungidde okuva eri obusolo , ebiwuka ebyonoona ebirime n’endwadde. Era ziyiza enduli y’omuti okufuna ebiwuka ebyonoona ebirime n’endwadde.
Liisa ebimera byo n’ebigimusa ebiwa ebimera ebirungo byonna bye byetaaga. Ebirungo bino mulimu; nitrogen, phosphorus, potassium, magnesium, sulphur, ne calcium.