Okulonda ekifo obulungi wamu n‘okuteeka emitendera gyonna munkola omulimi asobola okufunamu nyo mukulunda eby‘enyanja. Naye obutalonda kifo kituufu kijja n‘ebisoomoza bingi .
Ekifo ekisinga okugibwaamu amazzi g‘ebidiba by‘ebyenyanja mulimu obugga obutono, emigga eminene, nayikondo wamu n‘enzizi ensime, amazzi amalembeke okuva kumabaati. Kuuma ebidiba obutafiirwa mazzi nga okozesa ekiveera oba ebidiba bikole nga w‘eyambisa enkokoto .
Okulonda ekifo
Londa ettaka nga ly‘akaserengeto amazzi gasobole okuyingira wamu n‘okufuluma bulungi ekidiba awatali kusaamu maanyi.
Bulijo wewale ebitundu eby‘omuseetwe kubanga bino bireeta okulegama kw‘amazzi mukiseera ky‘enkuba enyingi.
W‘ewale ebituundu bw‘ensozi kubanga kikul‘etera okut‘ekamu amaanyi mukusima eky‘omutawaana eri abakozzi era n‘ebisenge biyinza okugwa mubiseera by‘enkuba enyingi.
Londa ekifo omutali mayinja manene, enjazi oba ebiyinja jinja.
Ettaka teriyina kubeeramu mafunfugu manji , omusenyu nga munji wamu n‘amayinja genkokoto kubanga bino birimu amabanga ekireetera okufiirizibwa kw‘amazzi.
Neera weeware okukozesa ebbumba kubanga lifuna enjatika ekireetera okufiirizibwa kw‘amazzi okuyita mukukuluguka.
Weewale ebituudu ebirimu emiti eminene egiyiiza okusemberera ebidiba era n‘emirandira giyinza okuvunda negikola emiwaatwa egiyinza okuwabya amazzi.
Weewale ebifo ebirimu enkuyege kubanga nazo zisima ebituli mu ttaka ekireetera amazzi okulukuta.
Wekaanye ekifo
Low‘oza ku by‘okweerinda, obutale era n‘okw‘anguyirwa okutuuka ku faamu kulw‘abaguzi okusobola okufuna ebivuddemu.
Neera lowooza ku miwendo gy‘abakozi kulw‘enteekateeka enungi.