Engeri y’okulimamu obulo

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=E1FQ3QcWHR4

Ebbanga: 

00:10:16

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agri Farming
Obulo buzaala bulungi nga buli mu ttaka erikenenuka obulungi. Tebugumira ttaka liregamau mazzi oba omusna oguyitiridde. Obulo busimbibwa nga oziika ensigo mu buwavu bwa inc mu ttaka. Nitrogen yatera okubulemesa okukula obulungi. Obungi bwa nitrogen bulina okusinzira ku makungula n'enkula wamu n'ensima. Nitrogen ayitiride ayinza okukosa empeke.

Obulo muteeko kubyo ebirime eby’empeke entono ddala ebirimibwa okwetolola ensi nga emere ey’empeke era eribwa abantu n’ebisolo. 

Busobola okukola ennyo mu kuziyiza nokuwonya endwadde nyingi . Obulo bulimu ebiriisa ebyomuwendo  bingi ebirungi mu butonde. Kubanga bugaga mu miwula, eminnyo nga magnesium, phosphorus, iron, calcium, zinc ne potassium. Obulo bwetaaga ebbugumu okumera wamu nokukula era bikosebwa nyo obunyogovu obuyitiridde. Ebbugumu erisinga okusanira liri 68-86^F.

 Ebyetagisa mu ttaka

Obulo buzaala bulungi mu ttaka erikunkumuka. Tebujja kugumira wantu watubira mazzi oba omusana ogususe. Obulo busimbibwa nga ensigo esonsekebwa mu ttaka ku buwanvu bwa inch wansi. 
Nitrogen kyekirungo ekitera obutamala nu kulima obulo. Obungi bwa Nitrogen bulina kusinzira ku makungula n’enkula wamu nabiki ebyali birimibwa. Nitrogen ayitiridde oba asibwamu busa oba yasigalira busigalizi akosa okegejja kw’obulo. 

 Ebika

Omuwemba gwetaaga ebbugumu lya wakiri diguli 25^c okukuwa amakungula agasinga mu mwaka. Ebiwuka n’endwadde tebitera kulabibwa mu muwemba naye ebinyonyi byo kyakwerarikiriza. 
Obulo ate bwo buvaamu phosporus omungi akola ekyamanyi mu kuzimba obutafali bw’omubiri. Obulo bulimi Calcium ne protein era nga mulimu ne iron wamu n’ebirungo ebirala bingi. 

Okulwanyisa ebitonde ebikosa obulo

Amayanzi gegakyasinze okulya obulo. Eddagala ly’ebiwuka lyakirizibwa okukozesebwa ku bulo okusobola okulwanyisa amayanzi. Akasanyi (Army worm) nako kamanyi okwegirisa naye nga kakyasobola okulwanyisibwa. 
Obulobuba butuuse okukungulwa singa ensigo ezisooka waggulu ku kirimba ziba zikuze. Ensigo eziri wansi mu birimba  ziyinza okuba nga zikyali  naye ziba tezikyalina langi yazo eya kiragala. Okutuuka wano, ebikoola n’obutabi biyinza okuba bga bikyali bya kiragala. 
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:45Obulo muteeko kubyo ebirime eby'empeke entono ddala ebirimibwa okwetolola ensi nga emere ey'empeke era eribwa abantu n'ebisolo.
00:4601:30Obulo bwetaaga awantu awabuguma okumera nokukula naye bukosebwa nnyo obunyogovu obuyitiride.
01:3102:20Obulo buzaala bulungi mu ttaka erikunkumuka. Tebujja kugumira wantu watubira mazzi oba omusana ogususe.
02:2103:00Obulo busimbibwa nga ensigo esonsekebwa mu ttaka ku buwanvu bwa inch wansi.
03:0104:00Nitrogen kyekirungo ekitera obutamala nu kulima obulo. Obungi bwa Nitrogen bulina kusinzira ku makungula n'enkula wamu nabiki ebyali birimibwa.
04:0105:00Omuwemba gwetaaga ebbugumu lya wakiri diguli 25^c okukuwa amakungula agasinga mu mwaka.
05:0106:10Ebiwuka n'endwadde tebitera kulabibwa mu muwemba naye ebinyonyi byebisinga okukendeeza amakungula.
06:1107:00Obulo bu finger millet bumanyikibwa nnyo mu maserengeta ga India busobola okulimibwa mu musana ogwokya nga ekirime ky'omusana oba nga ekirime ekyobunyogovu.
07:0108:10Ekrwade kya head smut kitera okuba ekizibu ku makungula naye nga kiyinza okwewarika nga ogema ensigo wamu nokukyusakyusa ebirimibwa.
08:1109:11Obulo bukungulwanga ensigo waggulu ku kirimba zikuze. Okukungula amangu kikendeza obungi, empooma, obuzito wamu ne langi.
09:1210:16Amafukuzi n'ebinyonyi kibaako obulabe eri amakungula mubiseera byokwengera. Ebibigoba byetagisa okutekebwa mu nimiro.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *