Waliwo endowooza nnyingi omuntu z‘ayinza okukozesa okuteekawo akalimiro akatono ng‘okozesa bulungi amazzi nga ennimiro ya kasooli, ennimiro ya kalina , enniiro y‘ebipiira, emmerezo erimu oluzzizzi n‘ennimiro ey‘okufukirira okw‘amatondo.
Ennimiro y‘omu bipiira eriraanye effumbiro efuuse nkola ya ttutumu mu tekinologiya w‘okulima. Bisobola okukolebwa mu ngeri ez‘enjawulo, mu buwanvu, obugazi ne langi ng‘okozesa ebikozesebwa ebiriwo. Ennimiro y‘omu bipiira terina kuteekebwa mu kisiikiriza era ekifo ekirondeddwa kirina okuba ekiseeteevu.
Okuzimba.
Salako ekitundu ky‘ekipiira ekya waggulu okukwongera ku bugazi, era ekipiira kisiige. Sala akaveera era okateeke wakati w‘ekipiira nga tonnateekamu ttaka. Ekipiira bw‘ekibeera ku ttaka, teekamu akaveera.
Yiwamu ettaka ng‘olitabuddemu ekigimusa mu kipimo kya 1:1 era ojjuze ekipiira. Oluvannyuma lw‘okufukirira, simba endokwa z‘oyagala. Ennimiro y‘ekipiira ekimu ekimu nnungi ku nva endiirwa n‘ebibala nga ekibala kya berry. Ennimiro y‘ebipiira ebibiri ya birime by‘emirandira ng‘emmere y‘omu ttaka.
Ennimiro y‘ebipiira eya kalina
Tandika n‘ebipimo by‘ebipiira okuva waggulu. Teeka empagi wakati era okakase nti ngumu okuwanirira ebipiira ebiwera ebirina ettaka. Empagi gizimbeko seminti ebeere ng‘eggumidde.
Panga ebipiira okuva wansi, ekipiira ekinene kirina okubeera wansi. Pima fuuti bbiri okuva ku wansi olwo oteekeko omutendera omulala okusinziira ku nva endiirwa z‘oyagala okusimba. Ku bipiira ebibiri mu nnimiro emu eya kalina, leka ebbanga lya mita emu wakati era obiwe ebbanga ekirime kisobole okukula.
Ebirime birina okuba n‘amabanga agamala okukula, osobola okusimba ebika by‘enva endiirwa eby‘enjawulo mu buli kipiira.