Omutindo gw‘ekigimusa gwegusalawo omutindo gw‘ebifulumizibwa n‘obungi bwa makungula.
Ekigimusa ekikolebwa okuva mu nsiringanyi kigattibwamu ebika eby‘enjawulo eby‘ensiringanyi okusobola okufuna ekigimusa ekiri ku mutindo wabula binakavundira byonna ebiriwo bisobola okweyambisibwa mu kukola ekigimusa okuva mu nsiriganyi.
Enteekateeka y‘ekigimusa okuva mu nsiringanyi.
Ekifo ky‘ekigimusa ky‘ ensiringanyi eky‘omutindo kiteekebwateekebwa mu bugazi bwa 1-5ms era n‘ekijjulizibwa nenakavundira. Okufukirira kukolebwa okusobola okukuuma ekifo nga kiwewevu.
Eky‘okubiri kiro emu ey‘ensiringanyi (African night crawlers)egatibwa mu kifo okumenyamenya nakavundira okusobola okufuna ekigimusa eky‘ensiringanyi ekirungi.
Bwomaliriza okugattamu ensiringanyi, ekifo kibikkibwa okukakasa nti empewo eyitamu bulungi. Wabula weewale okubikka ekifo n‘akaveera okukendeeza ku muliro n‘emika n‘ekirala weewale ebikozesebwa ebisikiriza enkuyege era okebeere obunyogovu buli ddakiika.
Okukungula ekigimusa ekikolebwa mu nsiringanyi.
Ekigimusa ekikolebwa okuva mu nsiringanyi kikungulwa oluvanyuma lw‘omwezi gumu era kungula ng‘ovira ddala waggulu. Kungunta nga bwoyawula ensiringanyi n‘ebitamenyeddwamenyeddwa awo bizzemu mu kifo.
Entereka y‘ekigimusa ky‘ensiringanyi n‘enkozesa.
Ng‘omaze okukungula, kikozese mu bwangu ddala oba okitereke kikole nga ekyongera ku bugimu oluvanyuma lw‘okukikaza. Mu dda obungi obuteekebwa ku kirime businzira ku kika ky‘ekirime n‘entabula y‘ekigumusa era kisinga kweyambisibwa ng‘oteekateeka ettaka eririmibwamu endokwa.