Mubinyeebwa mulimu ebirungo bingi ate era nga byamugaso mukugatta ekirungo kya nitrogen mittaka, mubiseera ebya makungula ebinyeebwa bibeera kukidibo era byononeka nnyo, bakakensa bazudde engeri y‘okwongera omutindo kubinyeebwa okukendeeza kukwononeka kwabyo.
Butto asobola okugybwa mubinyeebwa ngokozesa ebintu omuli entamu, ejjinja ery‘olubeengo, ebijiiko, akasengejja, omuliro awamu n‘olusaniya. Ng‘omazze okamula butto okuva mubinyeebwa kozesa byokamudemu butto okola ebyokulya ng‘obisiika mubutto akamuddwa.
Enkamula y‘abutto
Tandika nakuteeka ntamu kumuliro bwomala pima ekigero kyebinyeebwa obisiikeko kumuliro okumala eddakika kumi.
Ekyo bwekiba kiwedde ebinyeebwa bigye kumuliro bisobole okuwola. Bwebiba nga biwoze bulungi bigyeko olukuta lw‘okungulu olumyuufu.
Ssekula ebinyeebwa ebigyiddwako olukuta bigonde bulungi, biteeke mu ntamu endala era bwomala ogyiteke kumuliro.
Nobwegendereza weyongere okutabula ebinyeebwaa ebisekuddwa nga bwogattamu amazzi matonotono wabula wegendereze ebinyeebwa obutasirira okutusa butto lwatandika okulabika.
Bwomala entamu gyigye kumuliro esobole okuwola obulungi, ebinyeebwa ebisekuddwa biteeke mukagoye akasengejja olwo bwomala oteekeko ejjinja ezito kungulu kukagoye olwo butto asobole okwekaula obulungi okuva mu binyeebwa.
Kkungaanya butto atengejja kungulu kubinyeebwa paka lwomumalako.
Nekisembayo butto muteeke mukifo ekiyonjo ateeke bulungi wamu nebisejja okukka wansi ku ntobo y‘entamu.