Abalimi tebagala nnyo ku kuula muddo wabula waliwo enkola ez‘obutonde eziwerako ezeyambisibwa mu malawo omuddo mu birime.
Enkola z‘okutta omuddo ezisinga okolebwa zibaamu eddagala ery‘obulabe eritambulira mu ttaka olwo neriryoka lituuka ku birime.Eddagala lino era lisobolera ddalaa okusigala mu ttaka okumala ebbanga eggwanvu ery‘omwaka.Eddagala lino era lyabulabe nnyo eri ebisolo ebirundwa ewaka n‘abaanaa.Waliwo enkola ennyangu ez‘obutonde ezisobola okutta omuddo nga zinno zisobola okolebwa ewaka.Enkola zinno ez‘obutonde zisobolaa okuyamba okumala mu omuddo mu nnimiro era nga zikozesebwa nnyo mu bitundu ebitetaagira ko ddala muddo okugeza nga mu makubo agasibiddwa amayinja.
Engeri y‘okutta omuddo
Engeri esooka erimu okutabula vinegar n‘amazzi ag‘ekitundu mu kaccupa n‘okugattaa mu amatondo ga sabbuuni ayoza.Olutabu olwo lufuuyirwa ku muddo ku makya ng‘omusana gwaka nnyo.
Engeri ey‘okubiri erimu okutabula ebigiiko by‘omunnyo bisattu (table spoons)mu mazzi agabuguma .Amazzi agalimu omunnyo gatta omuddo nga gakenenula amazzi mu gwo naye galongoosa ettaka.