»Engeri y‘obutonde ey‘okutangiramu akasaanyi mu kasooli«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=wDVzi0ykWlY

Ebbanga: 

00:08:42

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

CABI Invasives
»Kinojjola omwetooloolo gw‘okuzaala n‘obulamu bw‘akasaanyi, obulabe obuli mu kukozesa eddagala ekkolerere, n‘enkola ezitangira ez‘obutonde okutangira akasaanyi.«

Engeri ez‘enjawulo ez‘okutangira n‘okuziyiza akasanyi mu kasooli kyongedde ku makungula. Wabula, okukola obulungi okw‘enkola ezo kwawukana ekintu ekyongera ku nsimbi ezisaasaanyizibwa mu kulima.

Kasooli akosebwa akasaanyi ku mitendera gyonna ekyanoonera ddala kasooli.

Obulamu bw‘akasaanyi buli wakati w‘ennaku asatu mu bbiri ku ana mu mukaaga okusinziira ku bbugumu eririwo.

Ebbugumu erisusse lyongera ku bungi bw‘ebitonde ebijja mu kukula kw‘ekirime.

Omwetooloolo gw‘obulamu

Amagi gaalula mu nnaku biri ku nnya okufuuka akasaanyi akalya ebikoola okumala ennaku kkumi na ttaano ku abiri mu omunaana.

Ebisaanyi bigwa wansi okufuuka nnamatimbo mu buwanvu bwa ssentimmita bbiri ku ssatu mu ttaka, mu nnaku musanvu ku kkumi n‘ennya, ebiwojjolo ebipya bivaayo.

Ebwojjolo ebikazi bifa mangu oluvannyuma lw‘okubiika amagi era ebikulu bisengukira mu kkiromita bikumi na bikumi nga biyambibwako empewo.

Ebisaanyi ebyaludde bibeera mu nnyingo wakati w‘enduli n‘ebikoola, birya ne bikuba ebituli era oluvannyuma bisaasaanira ku bimera ebipya.

Akasaanyi kakosa ebitundu kinaana ku buli kikumi eby‘ekirime singa kaba tekanguyiddwa.

Obukosefu obuva ku kukozesa eddagala okutangira akasaanyi

Kireetera okwonooneka kw‘obutonde okutagambika.

Okuttibwa kw‘obuwuka obusirikitu obutalina buzibu ku kirime, kikosa obulamu bw‘abantu era kyongera omuze gw‘obutawulira ddagala eri ebiwuka eby‘omutawaana.

Okutangira nga okozesa enkola ez‘obutonde

Omugatte gw‘enkola ezitangira ebitonde ebyonoona ebirime gulimu okukozesa ebitonde ebirya ebyo ebyonoona ebirime mu nnimiro n‘okukendeeza okw‘amaanyi ku nkozesa y‘eddagala eritta ebitonde ebyonoona ebirime.

Enkola ez‘obutonde ezitangira ebitonde ebyonoona ebirime mulimu okukozesa ebisaanyi ebirya akasaanyi, ebiwuka ebirya ebitonde ebyonoona ebirime n‘eddagala ery‘obutonde eritta ebitonde ebyonoona ebirime okuyita mu buwuka obusirikitu obuleetera ebiwuka endwadde.

 

 

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:48Kasooli akosebwa akasaanyi ku mitendera gyonna.
00:4901:07Obulamu bw‘akasaanyi businziira ku bbugumu eririwo.
01:0801:27Amagi gaalula okufuuka ebisaanyi oluvannyuma ebigwa wansi ne bifuuka nnamatimbo mu ttaka.
01:2801:37Ebiwojjolo ebipya bijja ebikazi ne bifa amangu nga bimaze okubiika amagi.
01:3801:54Ebikulu bisenguka nga biyambibwako empewo. Ebisaanyi ebyaludde bibeera mu nnyingo ekikoola we kigattira ku nduli.
01:5502:32Ebiwojjolo bikuba ebituli mu kasooli nga birya era ne bisaasaanira ku bimera ebipya.
02:3302:55Engeri ez‘okutangira nga okozesa eddagala zireetera okukosebwa okw‘amaanyi eri obutonde, nga zitta obuwuka obusirikitu obw‘omugaso eri ebirime.
02:5603:57Kikosa obulamu bw‘abantu era kyongera omuze gw‘obutawulira ddagala eri ebiwuka eby‘omutawaana..
03:5804:21omugatte gw‘enkola ez‘okutangira ebitonde ebyonoona ebirime zirimu okukozesa ebitonde ebirya ebitonde ebyonoona ebirime mu nnimiro.
04:2204:34Okukozesa eddagala okusukkiridde kukendeeza eby‘obutonde ebikolagana n‘ekirime.
04:3505:42Enkola z‘okutangira nga za butonde za mulembe era zirimu obuyiiya, tezeetaaga kusaasaanya nnyo, tezirina bulabe eri butonde era tezirina bulabe ku bulamu bw‘abantu.
05:4306:29Eby‘enkizo mu nkola y‘okutangira nga ya butonde by‘ebyokukozesa ebisaanyi okulya akasaanyi.
06:3008:18Okuziyiza nga oyita mu kukozesa ebiwuka ebirya obusaanyi n‘eddagala ery‘obutonde eritta ebitonde ebyonoona ebirime okuyita mu kukozesa obuwuka obusirikitu obuleetera ebiwuka obulwadde.
08:1908:42Mu bufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *