»« Endabirira y’omuddo gw’omuceere«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=Sp6HLYq8Qqs

Ebbanga: 

00:17:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2012

Ensibuko / Omuwandiisi: 

africaricecenter
»Nga bwetumanyi nti okwewala omuddo munimiro kyongera ku makungula ebintu 50 ku buli 100, kisaanide okukiwa akadde okwetegereza. Mu katambi kano, tugenda kuyigaengeri yokwewala omuddo esiinga. «

Omuddo kyekizibu ekisinga okutawanya abalimi b’omuceere nga bategeka enimiro, omuddo gunywa amazzi nobugimu mu ttaka nekikendeeza ku makungula agava mu muceere. Waliwo ebikka by’omuddo bibiri; ogw’akaseera n’omuwangaazi.

Mu nimiro eziri mu bitundu ebyakka wansi, simba nga owa amabaganga ga 15cm ate bwoba osimba singo lumu, koola oluvanyuma lwa wiiki satu 3 era oddemu oluvanyuma lwa wiiki bbiri 2 oba satu 3. Wabula bwoba osimbuliza musimbulize, okoola kuntandikwa yokukabala era notekaamu ekirungo kya nitrogen okwongera ku makungula.

Engeri z’okutangira omuddo

. Kabala ettaka, oliseteeze lyenkanekane era oleke amazzi ganjaale munimiro y’omuceere yonna nga gayiisa obuwanvu bw’omuddo okusobola okulemesa omuddo okumeruka naye era kiyambako nokusigulayo emirandira gy’omuddo era gikala oluvanyuma.

Enimiro eterezeddwa ku levo emu girekemu amazzi okumala wiiki bbiri 2 nga bwogalabirira obulungi okusobola okutta omuddo ogulimu.

Kabala ettaka era enimiro ogyangyaazemu amazzi omulundi ogw’okubiri okusobola okutta omuddo kubanga gusobola okweyongera okumeruka nga guva mu insgo n’emirandira.

Kuuma emikuttu omuyisibwa amazzi, n’ensalosalo nga biyonjo era sooka ku fulasiinga mikuttu gy’amazzi kubanga giyinza okuyitiramu ensingo z’omuddo nga ofukirira oba mu mbuyaga.

Kozesa ensigo enamu, ekkaze obulungi, nga ate eterekeddwa bulungi okuva kweyo eyomuddo kisobozese omuceere okumera obulungi nokuba n’emitunsi emigumu.

Londa ekika ky’ensigo enungi, kozesa omuceere ogumeruse okusimba era oguwe amabanga agasaniide okusbola okuvuganya omuddo.

Enimiro jikumiremu amazzi agekigero okusobola okuziyiza ensigo z’omuddo okumera.

Gyamu amazzi gonna awo otekeemu ebigimusa oba eddagala ly’omuddo okwanguya omuceere okukula okusinga omuddo.

Simba mu layini okwanguyiza okwawuula omuceere ku muddo.. Kozesa eddagala ly’omuddo nga omazze okwebuuza ku kituunzi oba omulimisa.

 

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:15Okutangira omuddo obulungi mu muceere kyongera ku makungula.
01:1604:07Omuddo ogw’ekiseera nogw’obuwangaazi byetanira nnyo enimiro z’omuceere.
04:0804:55Engeri z’okwetangira mu omuddo.
04:5605:17Tegeka enimiro y’omuceere nga okabala era oseteeze.
05:1805:48Enimiro enseteeze gilekeemu amazzi ganjaale okumala wiiki bbiri 2 wabula amazzi ogalabiria bulungi.
05:4907:47Lima enimiro oleeke amazzi ganjaale mu omulundi ogw’okubiri.
07:4808:16Kuuma emikutu gy’amazzi nga miyonjo wamu nensalosalo era ozibukule emiddumu omuyita amazzi.
08:1709:11Kozesa ensigo enamu, ekkaze obulungi, nga ate eterekeddwa bulungi okuva kweyo eyomuddo.
09:1210:50Londa ekika ky’ensigo enungi, kozesa omuceere ogumeruse okusimba era oguwe amabanga agasaniide.
10:5111:23Enimiro jikumiremu amazzi agekigero. Bwojjamu amazzi ottekemu ekigimusa or eddagala ly’omuddo.
11:2412:07Koola nga okozesa emikono, enkumbi oba eddagala era simba mu layini.
12:0812:32Bwoba osiimbye nsingo yenyini, koola oluvanyuma lwa wiiki 2 oba 3.
12:3313:28Bwoba osimbuliza busimbuliza koola kuntandikwa yokulima era otekemu ekirungo kya nitrogen.
13:2914:23Koseza eddagala ly’omuddo nga omaze okwebuza ku kitunzi oba omulimisa.
14:2417:00Mubufunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *