»Endabirira y‘ekirime kya kasooli ekitundu 2«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=0U0o/EfJW3Ew

Ebbanga: 

00:14:21

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AIRC National Documentaries
»«

Amakungula mu kasooli gasobola okukosebwa ddala singa omuddo, ebitonde ebyonona ebirime n‘eddwande tebilwanyisibwa bulungi.

Ebimu ku botonde ebyonona kasooli mulimu stem borers, ndiwulira, amayanzi, enzige, enkuyege, maize aphids, angoumois grain moth, nabubi, white grabs, African boll worm, akasanyi, maize lady bird beetle ne the maize leaf hoppers.

Okulwanyisa ebotonde ebyonona kasooli, kakasa nti ekirime kya kasooli kiramu nnyo nga bwekisoboka okusobola okulwanyisa ebimwonona.

Simba mangu okwewala obungi bw‘ebiwuka ebiyiika nga osiimbye bugenze, wetegereze obungi bw‘ebiwuka era obilwanyise nga bitandiise okukosa ebirime era ebyo ebyomugaso obikuume kubanga biyamba okulwayisa ebirala ebyobulabe.

Mu ngeri eyokwetegereka kozesa eddagal erifuyira ebiwuka era olikyuse ekika buli lwofuyira okwewala obusobozi bwokumanyira ekika ky‘eddagala ekimu.

Beera nga okyusakyusa ebirimibwa mu nimiro naye wewale okuzaamu ebifanaganya abalabe nga okala enteekateka yokukyusakyusa, simbamu ekimera ekibuzabuza ebitonde ebyonona ebirime bigye ebirowoozo ku kasooli era kendeeza ku kitundu ekifuyirwa n‘eddagala era osimbe ebika bya kasooli ebigumira ebiwuka.

Okulwanyisa obulwadde bwa kasooli

Okumanya obulwadde kikulu nnyo mu kulwanyisa endwadde. Obulwadde bwa kasooli obumanyikidwa enny mulimu maize lethal necrotic disease, fusarium wilt, stalk ne ear rot, leaf blight, grey leaf blight, common rust ne head smut.

Okulwanyisa obulwadde, beera nga okeberakebera enimiro era okole kyolina okukola wekyetagisiza, kyusakyusa byolimira mu nimiro, kozesa ensigo enyonjo eyatongozebwa, kakasa nti enimiro nyonjo era nga temuli muddo.

Okulwanyisa omuddo

Omuddo gukendeeza ku makungula nga guwakanira ebirungo ebiyamba mukukula. Lowooza ku kutangira omuddo nga ebirime tebinasimbibwa era ogugobe nga okozesa ebintu ebyenjawulo omuli okuguliisa ebisolo, kozesa ensingo etaganya muddo nga emera mangu era nokukoola mu budde.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:42Omuddo, ebitonde ebyonona ebirime n‘eddwande bikendereza ddala amakungula mu kasooli tebilwanyisibwa bulungi.
00:4301:38Ebintonde ebitera okwonona kasooli
01:3904:49Engeri z‘okulwanyisamu ebitonde ebyonona kasooli.
04:5006:09Okumanya obulwadde kikulu nnyo mu kulwanyisa endwadde.
06:1006:49Engeri z‘okulwanyisamu obulwadde bwa kasooli.
06:5010:45Omuddo gukendeeza ku makungula nga guwakanira ebirungo ebiyamba mukukula.
10:4613:57Lwanyisa omuddo nga okozesa engeri ez‘enjawulo.
13:5814:21Okusiima

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *