Bw‘omansa ensigo y‘omuceere, ensigo ezisinga zonooneka. Okutaasa kino osaana okole emmerusizo oluvannyuma osimbulize.
Abalimi batera okumansa ensigo ng‘enkuba tennatinnya naye enkuba bwetonnya ensigo zizikibwa olwo ate omulimi nasiga buto.
Okusimbuliza
Okusimbuliza kukekkereza ensigo, amazzi n‘ebiriisa. BWOsimbuliza osobola okusimba endokwa entuufu. Bwosimbuliza omuceere oba oguwadde omukisa okulwanyisa bulungi omuddo.
Okukola emmerusizo
Ebirime tebiyina kusussa bikoola bina nga tebinasimbulizibwa. Liraanya emmerusizo ku mazzi, awali omusana ate ngeriraanye ennimiro. Kakasa nti teriraanye nsolo. Tokozesa musenyu kuba gukala mangu. Engeri amazzi gyegava kunsozi nga gakka mu kisenyi kakasa nti ekitundu ekiwanvu eky‘emmerusizo kitunudde mu lusozi.
Kola emmerusizo mita emu obugazi ne mita kumi obuwanvu. Sayizi eno nnyangu okukoleramu. Giteeketeke bulungi ogiseteeze mukoka aleme kuyingira munsigo. Mulungula ebifunfugu n‘ebigimusa ensigo zisobole okumera obulungi nga zisimye emirandira. Emmerusizo ey‘obuwanvu bwa mita 10 esobozesa amazzi okukka mpola muttaka. Mubitundu webafukirira lekamu emifuleje kisobozese okufukirira ebimera obulungi.
Emmerusizo erya mita kumi, wetaaga kiro bbiri ez‘ensigo. Emmerusizo eno esobola okusimba ennimiro ya sikweyamita mita 500. Nyika ensigo ez‘okumerusaokumala olunaku ngozisibye mulugoye. Jjamu ensigo ozisse mukifo wezisobola okufunira empewo okumala ennaku bbiri okutuusa lwezimera.
Tabula ensigo n‘ettaka osobole ozikuuma eri ebinyonyi bwomala era tabula olubatu lwobusa muttaka lino. Bikka ettaka nebisusunku osobole okuuma ensigo nga ziri mubunnyogovu wamu n‘okuzitangira eri ebinyonyi. Jjako ebisusunku oluvannyuma lw‘enaku satu ku nya. Weeyambise amatabi g‘emiti ozimbe akayumba mita emu n‘ekitundu obuwanvu okuva ku ttaka. Tekako ebisansa ate ogifukirire buli lunaku oluvannyuma lwa wiiki emmerusizo ejja kuba egumye olw ojjeko akayumba.