Muwogo kirime kyankizo nnyo mubitundu bingi mu Afirika, naye amakungula gali wansi. Emitendera egimu gisobola okugobererwa mukumulima okusobola okw‘ongera ku makungula.
Okufuna amakungula ga muwogo amangi, londa ekifo ekisaanye ekitali kukaserengeto, eky‘olutobazi, oluyinja oba erimpi. Bwekiba nga ekisambu kikulu era nga kiwanvu nnyo okusobola okukifuuyira ne bomba, saawa ekisambu era okabale naye singa guba mudo zisa nga w‘eyambisa omudo omale osaawe awo okireke okumala wiiki 2 omudo okukala. Fuuyiza neddagala lya glyphosate eri omudo ogumera. Eddagala lya glyphosate lisobola okukozesebwa ku kumido egitamala gafa era nga giyina obuwanvu obutasuka mita emu.
Enteekateeka ye ttaka
Okuteekateeka ettaka ly‘okusimbako muwogo, kabala ettaka. Okukabala kwamuwendo naye kuvirako amakungula mangi. Okukabala kwongera kumakungula waakiri kilo 5000 buli yiika. Okutuumibwa kwe ttaka nakwo kusobola okukozesebwa kubanga kwongera kumutindo ekitono ennyo kiro 4000 buli yiika era nga abalimi bakubirizibwa singa ettaka libeera lya bumba nyo oba nga oteekateeka okukungula mu kyeeya. Oluvanyuma lw‘okuteekateeka enimiro siga.
Okusimba n‘okuziyiza omudo
Simba muwogo wokka nga ettaka lirimu amazzi agamala kubugazi bwa mita 1 okuva kulunyiriri olumu okutuuka kululala ne mita 0.8 okuva kukimera ekimu okudda kukirara era awo fuuyira neddagala elikozesebwa nga ebirime tebinameruka.
Emido nga jitute 3o% kunimiro oba nga ebikoola biri 4 ku 6, goberera ebikolebwa nga omudo gumaze okumera nga weyambisa eddagala erifuuyira omuddo nga gumeze, nga w‘eyambisa ebyuuma, oba okugulima gwe wenyini. Mukukozesa eddagala erifuuyira, kozesa engabo okuziyiza eddagala lireme kukoona ku bikoola bya muwogo. Todingana ddagala mwaaka ku mwaaka kubanga kino kiyinza okuviirako emido okugumira eddagala.