Okukola emmere ya silage eri ku mutindo weetaaga okumanya ebipimo ebyetaagisa ku buli mutendera nga bwe biragiddwa wammanga. Olina okuba omwegendereza ennyo mu kuppakira emmere ya silage okukasa nti buli mutendera gulina obunene obuli wakati wa 15-30cms.
Beera mwegendereza emipiira gya tractor obutakyafuwala okusobola okukuuma omutindo gw‘emmere ya silage.
Okukola emmere y‘ebisolo eyitibwa sirage.
Nonya era osimbe ekimera ekiggumira embeera y‘ekifo mw‘oli.
Manya ekiseera ekituufu omw‘okukungulira n‘obuwanvu bw‘ekimera kyogenda okusala okugeza omuddo ogulina obuwanvu obuli wakati wa 5 ne 10 cm , oba kasooli alina okuba wakati wa 15-30cm.
Temaatema emmere ya silage mu buwanvu obw‘enkanankana ne mita 10 ku 20 kuba ebiwanvu ennyo bikkalubiriza okuppakira era ne biretera empewo okuyingira ennyo ate ebitemeddwa nga bimpi oba bitono bikalubirizibwa mu kugaaya.
Biwootese nga tonabipakkira okwewala empumbu okujja mu mmere ya silage.
Kozesa eddagala erikkakkasidwa mu kulunyisa obuwuka nga homofermentative ne heterofermentative okusobola okukuuma olunyo lw‘ettaka n‘okwongera ku nfuna.
Jjuza kumukumu era obikke emmere ya silage okukendeeza ku mukka gwa oxygen ekiremesa okukula kw‘obuwuka obusirikitu obukozesa omukka ogwo.
Sabika bulungi nga weyambisa akaveera akakkakkasiddwa nti kaziyiza omukka gwa oxygen okuyingira n‘okwonoona emmere ya silage nga kiva ku mpewo eyingira evirako empumbu okumera.