Endwadde nnyigi zikoseza emiti nga kiva ku kusalira obubi nga kino kivirako okosebwa kw‘emiti n‘okwogeza emikisa gy‘okulumbibwa endwadde.
Abarimi balina okweyambisa ebikosesebwa mu kusalira ebirina obwogi obutuufu ate nga biwangazzi.
Okusalira obulungi
Ekyuma ekiyitibwa Secateurs;kyekye yambisibwa okusalamu olulimi lw‘emiti oba amatabi agobusimba.Ate ekyuma ekyiyitibwa Loppers kye kyeyambisibwa okusala amatabi agadda mu bukyiika oba mumabaali. Omusuumeni gweyambisibwa kusaala mataabi manene.Guno gulina okubeera omwogi obulungi okusobozesa okusala amataabi. Tusalila ku ango ya 45.Olusolobyo (tipping pole) lw‘eyambisibwa okusala amataabi agali mubuwanvu obutatukibwako ela nga lusalira ku ango ya 34. Masiini(Motorised pruner)yeyeyambisibwa okusala enduli na mataabi amanene.
Ebigobelerwa eby‘awamu
Saala etaabi elikula obusimba ku ango ya 45.
Okusala obutelevu kiretela amazzi okusigala awasaliddwa nekivirako endwadde ate okusaala obusimba kyandiretela kw‘ekirime okufuna ekisago ekinene.
Amataabi tegalina kusalibwa wala okuva ku nduli oba kusalibwa butereevu ku nduli. kino kyandivirako awavudde etaabi okulwawo okuwona bunambiro.
Nga osaala ko amataabi amanene, sooka osaleko akabajjo wansi w‘etabi oluvanyuma olyoke osaale etaabi okuziyiza okuyabulizibwamu.
Nnyika oba teeka ebyuma ebye‘yambisibwa okusalalira mudagala okutta obuwuka obwandivilako okusasanya kw‘endwadde okuva ku muti ogumu okudda kumulaala.