»Ebisolo n‘emiti ku lw‘ekimera ekirungiko«
Ebisolo bikola omulimu gwa mugaso mu kukuuma ettaka nga ddamu so nga byo ebigimusa biyamba mu bimera okukola emmere. Okusiba oba okulundira ebisolo ku ttale kizza ebigimusa n‘omusulo mu ttaka. Omusulo gulimu ekirungo kya “nitrogen“ eri ebimera tekyetaagisa bakozi balala mu kuteekamu ebigimusa oba okubitereka.
Okukuuma enkolagana ennungi n‘abalunzi kya mugaso eri abalimi abatalina bisolo byabwe. Bayinza okukkaanya ku kugabana ebisigalira by‘ebirime, ssente oba emmere, n‘ekivaamu, omulunzi asobola okuleka ekigimusa ku ttaka.
Emiganyulo
Emiti okugeza nga omweramannyo gireeta ekisiikirize, guggya ekirungo kya “nitrogen“ okuva mu mpewo ne gimuzza mu ttaka era gyongera ku kukula kw‘ebimera. Era mirungi eri ebisolo anti gigezza ebisolo era gyongera ku mata egava mu bisolo, gitangira embuyaga era giyamba okukuumira amazzi ku ttaka.
Ebiso eby‘enjawulo biwa ebigimusa eby‘omutindo ogw‘enjawulo, ebigimusa ebiva mu nsolo entonotono bya maanyi nnyo ne kuddako eby‘engamiya eby‘ente ne bisemba. Ebifo oba ettale okuli ebisolo ebisibwa oba ebitaayaaya kubeerako omuddo gwa kayongo mutono ddala bw‘ogeraageranya n‘ebifo oba ettale ebigimusa mwe bigattibwa nga biggiddwa mu bifo ebirala.
Enkozesa y‘ebigimusa
Ebigimusa ebingi ennyo biyinza okuleetera okunaabuuka kw‘ebigimusa ne biggwa mu ttaka oluvannyuma lw‘enkuba ennyingi. Obusa bw‘ente obuyitiridde busobola okukosa ebirime mu biseera by‘ekyeya noolwekyo okukendeeza obungi bw‘ekigimusa kiyinza okuyamba okuziyiza kino.
Obusa obwakava mu nsolo tebulina kutwalibwa butereevu mu nnimiro anti kijja kusaasaanya ensigo z‘omuddo okugeza kayongo. Obusa buteekebwa mu kinnya okutuusa lwe buvunda olwo busobola okutwalibwa mu nnimiro. Omuntu omu ayinza era okugattamu ebisigalira by‘ebimera okukola nnakavundira oba okuleka obusa ne buvunda.
Enkoko ezirundirwa mu biyumba ziyamba mu kwanguya okukungaanya kalimbwe waazo ayinza okugattibwa ku busa obuvunda. Omusulo nsibuko ya maanyi ey‘ekirungo kya “nitrogen“ ogulibwa okukungaanyizibwa, ebyalirirwa ente kwe ziwummulira nga omusulo bwe gutasobola kufuumuuka.
Ensolo tezirina kuweebwa muddo guyitibwa kayongo. Ensigo zaagwo zirina kuggibwako na ngalo oluvannyuma lw‘okukungula okuziyiza ensolo okutambuza ensigo za kayongo okuzitwala mu nnimiro.