»Ebisagazi okuva ku mutendera gw‘okusimba okutuuka kumakungula«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=ftQ-DGn8wWA

Ebbanga: 

00:06:14

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Rehoboth Organic
»Emitti gy‘ebisagazi ebirungi woba obyagala bitundibwa ewa Ariyalur, TN @ 9790987145«

Ebisagazi mmere ya bisolo esimbibwa ,bisobola okuba nga bikyali bibisi oba nga bisekuddwamu emmere nga enno egatibwamu sukaali ekigiretera okuwangaala mu kulima n‘okulunda.

Ebisagazi ebikulu bilimu ekiriisa era nga biribwa ebisolo n‘ebinnyonyi.

Oluvannyuma lw‘enaku 45 ebisigazi bikula fuuti 3 – 4 mu buwanvu era mu nakku 60 ekimmera kifuuuka fuuti 5 -6 f obuwanvu era mukukungula ttema amakati g‘ekimmera okuva wansi nga weyambisa akuuma akasala ebisagazi bisobole okuddamu okukula.

Okusiimba paka ku makungula.

Sooka okabale ennimiro osobole okugonza ettaka era otteme ekinnya kya fuuti 3 okuva kukimu okudda ku kirala bisobole okukula obulungi.

Eky‘okubiri simba amakati g‘ekirime mukabanga ka fuuti 2 mu bbugumu lya diguli 45 era obikeko yinki 2 ez‘ettaka.

Osobola okufukirira ebimera bisobole

Oluvannyuma lw‘ennaku 30 jjamu omuddo okusobola okwewala okuvvugannya kw‘ebirisa wakatti w‘omuddo n‘ebirime ,olw‘o byo ebimmera bisobole okukula obulungi.

Womaliriza teeka nakavundira ava mu butonde n‘ebigimusa ebili mu foomu y‘amazzi okumpi n‘amakati g‘ekimera paka ku bikoola okusobola okuyamba ekimera okukula obulungi.

Mukugattako, kungula nga ennaku 60 ziyiseewo obiteme oliise ebinnyonyi n‘ente ng‘ekimera kiri fuuti 3-4 obuwanvu.

Mukufundikira oluvannyuma lw‘ennaku 75 osobola okukungula ng‘ekimmera wano kibakya fuuti 5-6 ttema okuva wansi ,okusobola okuyamba ebirala okumeruka era obiteme oliise ebisolo byo.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:34Okusiimba paka ku makungula g‘ebisagazi.
00:3500:47Kabala ettaka era otteme ekinnya kya fuuti 3 okuva kukimu okudda ku kirala
00:4801:06Simba amakati g‘ekimmera fuuti 2 ku bbugumu lya diguli 45 obikeko ettaka lya yinki 2
01:0701:19Fukirira ebimera bisobole okukula obulungi.
01:2002:22Oluvannyuma lw‘ennaku 30 jjamu omuddo . mu nnaku 45 ebisagazzi bibeera bikuze paka ku fuuti 3-4 mu buwanvu.
02:2303:01Fukilira oluvannyuma lw‘ennaku 7
03:0203:49Teeka nakavundira ava mu butonde n‘ebigimusa ebili mu foomu y‘amazzi okumpi n‘amakati g‘ekimera paka ku bikoola.
03:5004:35Kungula nga wayiseewo ennaku 60 ttema oliise ebinnyonnyi n‘ente.
04:3605:06Era ddamu okungule oluvannyuma lw‘ennaku 75 ng‘ottema okuvva wansi oliise ebisolo byo.
05:0706:14Ttema amaakati g‘ekimera okuvva kuttaka okole emmere y‘ebisolo.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *