Water resource users association (WRUA) bikolebwa abeeyambisa amazzi n‘ebannannyini ttaka kumbalama z‘emigga.
Ebibiina bino bikolebwa okulabirira n‘okukuuma ebifo ebivaamu amazzi ebikozesebwa. Ebigendererwa byabyo ebikulu kwekukendeeza obukuubagano obuva ku mazzi, okukakasa nti amazzi agakozesebwa wegali n‘okukuuma obutonde obwetolodde omugga obumanyidwa nga riparian zones.
Enkola yaabyo
Mu kenya WRUA byasooka okutandikiriza okukolebwa mu myaka gya 1990. Byakolebwa mu bitundu ebyetoloodde emigga okuwa obukakafu bammemba babyo bonna abeetaba mu biteeso ebisalawo ku kulabirira n‘engeri ey‘okweyambisaamu amazzi g‘omugga.
Okusalawo ku bukubagano
Okukaanya ku bitukibwako okuyita mu nkozesa eyekyenkanyi eyaabo abali ewala nabo abali ku mugga. Ebitundu 70% ebyebifo ebivaamu amazzi byeyambisibwa ssonga ebitundu 30% birekerwa ettaka n‘obutonde obwetoloodde omugga. Ettaka eryetoloodde omugga liweebwa ekitibwa singa abantu basomesebwa engeri y‘okukuuma endokwa ezimera muttaka eryetolooddwa omugga.
Okukuuma oluzzi lw‘omudumo kikolebwa nga bazimba ekisenge okwetoloola oluzzi okukwata mukoka n‘okubumbuluka kwettaka. Obumanyirivu bulaga nti okukkaanya mu bitundu yenkola yokka esinga esobola okumalawo obukubagano.
Ebirungi bya WRUA
WRUA essaawo engabanya ya mazzi ey‘ekyenkanyi mubagakozesa ate natumbula enkola z‘okukuuma n‘okulabirira ettaka namazzi.