Ebinnyebwa by‘ebirime ebirina ebiriisa ebiyayanibwa ennyo nga biwerako . Wabula ennima yabyo etataganyizibwa enkola embi ez‘okulima abalimi zebakozesa.
Ebinnyebwa biwa amakungula amalungi singa ebikolwa ebitonotono biba bigobereddwa okugeza,embeera ettaka mweriri ,siga ebika by‘ensigo eby‘enjawulo n‘okutabinkiriza. soil conditions, seed variety planted and crop rotation.Tabinkiriza ebirime okusobola okwongera ku mutindo gw‘ettakaa n‘okukendeeza obulwadde. Kozesa ettaka ly‘olusenyusenyu . Ebinyebwa tebikulaa bulungi bw‘obilima mu ttaka eririmu amazzi agalegama ne muttaka ezitto eririmu ebbumba. Tegeka ettaka lyo ng‘enkuba tenatandiika osobole okusimbira mu budde.
Okunnyika ensigo mu ddagala
Londa ebika by‘ensigo ebituufu ezinakola ku katale era ozisimbe mu ntumu y‘ettaka okusobola okutereka amazzi nga wekisoboka. Kebera obusobozi bw‘enkula y‘ensigo ng‘osiga n‘okufukirira mu wiiki 2 era n‘okubala ensigo ezimeze. Enkula y‘ensigo ennungi ekulagira okusimbuliza obizze mu nnimiro ate enkula embi ekukubiriza okunonya ensigo empya eziwerako. Ensigo ziwe akabanga ka 10cm – 15cm okusinzira ku bunnene bw‘ensigo okusobola okuzibika ettaaka erimala,okwewala obulwadde n‘okukuuma obuwewevu bw‘ettaaka okumala akaseera akawanvu. Ennimiro gikuume nga teriimu muddo kubanga guziyiza omusana eri ebirime n‘okubba amazzi gabyo.