Ebiruubirirwa by’abalimi kwe kufuna amakungula amalungi nga omwaka oba ssizoni eweddeko. Waliwo ebikolebwa okulaba nga okulafuubana kw’omulimi tekufa ttogge.
Okulamba olunaku lw’osize kya mugaso kubanga buli kika kikula ne kituuka okukungula mu kiseera ekitali kyekimu n’ekika ekirala. Kino kiyamba omulimi okubala obulungi ekiseera ekirime we kinaatuukira okukungula. Mu ssoya, ebika ebimu ebya ssoya bikula mangu era bisobola okutwala ennaku wakati w’ekinaana mu ettaano n’ekyenda mu ettaano nga bituuse okukungula, so nga ebika ebirala birwawo era bisobola okutwala wakati w’ennaku kikumi kkumi na ttaano n’ekikumi mu abiri. Laba nga okola enteekateeka esaanidde ey’okukungula nga ekiseera eky’okukungula kisemberedde.
Obubonero obulaga nti ekirime kituuse okukungula
Nga ssoya ne kawo bituuse okukungula, ebikoola bifuuka bya kyenvu era binogoka ne bigwa. Eminyololo gikyuka langi okuva mu ya kiragala ne gifuuka gya kyenvu nga ebirime kisemberera okutuuka, era bwe bituuka langi ekyuka okuva mu ya kyenvu n’edda mu ya kikuusikuusi oba kitaka okusinziira ku kika ekyasimbibwa.
Eminyololo egituuse girina okubeera emikalu nga ogikutteko, era osobola okulabira ku ssoya oba kawo omu okulaba oba atuuse okukungula. Ku ssoya, langi y’ensigo ekyuka okuva mu kiragala okudda mu kyenvu omunaabuufu, so nga ku ssoya, langi ekyuka okusinziira ku kika kye wasimba.
Okukungula ebirime eby’empeke
Okusobola okufuna ebirime eby’empeke eby’omutindo, bikungule nga obubonero obulaga nti ekirime kituuse bweragirawo. Okukungula ebika by’ebirime ebyasa eminyololo ne biyiwa ensigo tekulina kulwisibwa.
Okukungula kusobola okukolebwa nga weeyambisa ekiso oba nnajjolo nga ekikolo ky’ekimera okitemera wansi ddala oba okukikuula n’obiteeka mu bifo eby’enjawulo mu nnimiro naddala nga obiteeka ku ttundubaali.