Okufiiriziibwa oluvannyuma lw’amakungula : Entambuza y’obukutiya obulimu emmere y’empeke.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://sawbo-animations.org/216

Ebbanga: 

00:03:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2012

Ensibuko / Omuwandiisi: 

SAWBO
Akatambi kanno akawuntuwaza ebisolo kannyonyola engeri y’okutambuza obukutiya esinga.Kakwata ku ngeri y’okutegeka mu awatuula ebukutiya ku mmotoka n’enkozesa y’amatundubaali okusobola okukendeeza ku kufiirizibwa okubaawo nga batambuza emmere y’empeke.

Kyamugaso nnyo okufaayo ennyo ng’otambuza ebukutiya bw’ensigo oba ebw’emmere y’empeke kuba ebintu ebisongovu bisobola okuyuza obukutiya bwo nekikuviirako okufiirwa byokungudde.

Nga tonatandika kuteeka makungula go ku mmotoka,sooka girongoose ogyeko ebyasigalira ebiba biriko,obutuli wansi ne ne waggulu w’emmotoka webuba kwebuli buzibe oluvannyuma tikka obukutiya bwo mungeri effaanagana okusobola okwewala okutikka obukutiya obungi.
Okutikka nga kuwedde,ebukutiya bubike ko okusobola okwewala ebinnyonnyi n’enkuba okwonoona amakungula go,Waggulu ku bbaati ly’emmotoka teeka ko obutti obwewese mu obukoleddwa mu mabanda oba ekyuma okusobola okuziyiza amazzi agawera okulegama waggulu ku mmotoka ,oluvannyuma bikka waggulu era ekibikka kituukize ddala wansi okuvva waggulu okusobola okubikka amakatikati g’ekitanda ky’emmotoka era okisibe bulungi.
Mu kiseera ky’okutambuza obukutiya,kakkasa nti oyimirira emirundi egiwera mu kubo osobole okukebera ku mbeera y’omuguggu gw’otambuza era wekiba kyetaagisa ddamu opange bulungi.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:30Kyamugaso nnyo okufaayo ennyo ng'otambuza ebukutiya bw'ensigo oba obw'emmere y'empeke kuba ebintu ebisongovu bisobola okuyuza ebukutiya bwo nekikuviirako okufiirwa byokungudde.
00:3101:05Emmotoka girongoose ogyeko ebyasigalira ebiba biriko nga tonatikka era,obutuli wansi ne waggulu w'emmotoka webuba kwebuli buzibe oluvannyuma tikka ebukutiya mungeri efaanagana okusobola okwewala okutikka obukutiya obungi.
01:0602:13 teeka obutti obwewese obukoleddwa mu mabanda oba ekyuma okusobola okuziyiza amazzi agawera okulegama waggulu ku mmotoka era bubike paka masekati g'emmotoka okuva waggulu okutuuka wansi.
02:1402:38Yimirira emirundi egiwera mu kubo osobole okukebera ku mbeera y'omuguggu gw'otambuza era wekiba kyetaagisa ddamu opange bulungi.
02:3903:00Mu bufuunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *