»Lwaki enkoko zirekera awo oba okukendeeza okubiika amagi«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=G4fAueBeyfI

Ebbanga: 

00:17:17

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Best Farming Tips
»Bw‘olunda enkoko ezibiika oba ezitaayaaya oba embaata oba ssekkoko oba enkofu, obugubi oba ekika ky‘ekinyonyi kyonna, ne zikula, oba oyagala ozifunemu nnyo nga bwe kisoboka. Naye bweziba nga tezibiika magi mangi nga bwe wasuubira? Kale, akatambi ka leero kye kagenda okwogerako.«

Bw‘olunda ebinyonyi ne bikula, obeera oyagala ziveemu kingi nnyo naye oluusi si bwe kiba.

Ku wiiki 18, ezibiika ziba zirabibwa nti nkulu era mu kiseera kino olina okuziggya ku mmere ezikuza n‘ozizza ku mmere y‘ezibiika naye terina kuba ya kagwirawo kubanga eyinza okuzireetera obuzibu mu kyenda ekikuba emmere. Sooka ozikyusize mpola, tandika ng‘otabula emmere ezikuza n‘emmere y‘ezibiika okumala ennaku nga ttaano awo oluvannyuma otandike oziriisa emmere y‘ezibiika. Okubiika eggi mu lunaku, enkoko ezibiika zeetaaga ekirungo ekigumya amagumba n‘amannyo nga kingi, vitamin n‘ebirungo.

Ensonga ezizireetera okubiika empola

Endiisa embi. Emmere erina okubaamu ekiriisa ekizimba omubiri, vitamin, ebirungo n‘amazzi g‘okunywa amayonjo birina okuziweebwa buli kadde. Wajja kubaawo okukka mu nfulumya y‘amagi singa enkoko ezibiika omala essaawa nnyingi nga toziwa mmere na mazzi. Kikubirizibwa okuliisa enkoko emmere ekaatuuse kubanga ezizzaamu obulamu ate n‘ebiriisa okusinga emmere enkalu.

Okuziriisa ennyo. Kino kikosa obuzito bw‘enkoko ate nga obuzito bw‘ezibiika bulina okufugibwa era zirina okuba wakati wa kilo emu n‘obutundutundu mukaaga oba kilo bbiri. Enkoko ezitazitowa n‘ezizitowa zombi zibiika amagi matono.

Okwagala okumaamira okw‘enkoko. Newankubadde ezibiika ziba zaakolebwa obutamaamira, ezimu zimaamira ekikendeeza ku mbiika yaazo.Broodiness in hens. Okukendeera kw‘ekitangaala nakwo kukendeeza ku mbiika y‘amagi. Ezibiika zeetaaga essaawa 16 ez‘ekitangaala okuva ku nga za wiiki 18.

Olulyo n‘obukulu bw‘enkoko. Endyo ezibiika obulungi mulimu Rhode island red, Sussex, Australorp n‘endala. Enkoko ebiika etandika ejjakubiika nnyo naye amagi gajja kuba matono wabula ate ku ntikko, etandika okubiika amagi amaneneko agaabulijjo.

Okulya amagi wano ng‘ekoko ezimu zirya amagi gaazo singa ekirungo ekigumya amagumba n‘amannyo kikendeera mu mmere yaazo.

Okubulwa emirembe okuva mu bbugumu eringi erireetebwa embeera y‘obudde, okubeera ennyingi mu kifo ekimu n‘obuwuka obutawaanya enkoko bireetera okukendeera mu mbiika y‘amagi.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:50Enkoko bwe zikula, oba oyagala zibiike nnyo nga bwe kisoboka.
01:5104:46Okulabirira obulungi enkoko ezibiika.
04:4707:43Endiisa embi n‘amazzi amatono bikendeeza ku mbiika y‘amagi.
07:4408:30Enkoko ezitazitowa n‘ezizitowa zombi zibiika amagi matono.
08:3109:39Okumaamira mu nkoko kuleetera amagi okukendeera.
09:4010:20Okukendeera kw‘ekitangaala wansi w‘essaawa 16 nga za wiiki 18.
10:2111:34Obukulu n‘olulyo lw‘enkoko nakyo kikosa embiika yaazo.
11:3512:24Enkoko okulya amagi ekirungo ekigumya amagumba n‘amannyo bwe kikendeera mu mmere yaazo.
12:2515:34Okubulwa emirembe okuva mu bbugumu eringi erireetebwa embeera y‘obudde, okubeera ennyingi mu kifo ekimu n‘obuwuka obutawaanya enkoko.
15:3517:17Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *