»Engeri yokwewala obulwadde mu nkoko ez‘ekika kya kienyeji«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=GU9zm7mrhbc

Ebbanga: 

00:04:42

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Homerange Poultry Kenya
»Engeri yokwewala obulwadde mu nkoko ez‘ekika kya kienyeji | Engeri yokwewala obulwadde mu nkoko | Engeri yokwewala obulwadde mu nkoko | Engeri yokwewala okuffa mu nkoko ez‘ekika kya kienyeji«

Amaka mangi agalunda enkoko awaka naye obuzibu bwegasinga okusanga bwe bulwadde bw‘enkoko.

Okwewala endwadde kikulu nnyo mu kulunda ebinyonyi era nga kino kisoboka nga okuuma obuyonjo obusembayo. Endwadde zikoseza ddala ebinyonyi kubanga zireeta okufirwa bwoba ozirunda. Okufirwa kuyinza okuba okuffa kw‘ebinyonyi, okwesala ku bivaamu oba sente ezikozesebw amu kujjanjaba endwadde.

Obukodyo bw‘okwewala endwadde

Enzimba y‘ekiyumba ky‘enkoko nkulu nnyo mu kulwanyisa obulwadde. Enkula erina okuba nga ebinyonyi tebirinya mu kalimbwe okugeza okuzimba ekiyumba nga kiri waggulu kalimbwe nga ayitamu naggwa wansi ku ttaka era nagibwawo nga olongoosa.

Okwemanyiza okukozesa enkola eyokumalamu zonna omulundi gumu wetuletera omujiji gw‘enkoko negulindibwa era nezitundibwa zonna olwo endala neziretebwa nga enkadde zonna ziweddemu era nga ekiyummba, ebinywerwamu n‘ebirirwamu byozebwa era nebinyikibwa mu ddagala. Wamu nokusaawo ekkomo ku bagenyi abakyaala ku faamu.

Okugoberera enkola ey‘okugemesa nga ogigenderako nga enkoko ozigemesa obulwadde.

Okukuuma obuyonjo obwawaggulu ku birirwamu n‘ebinywerwamu. Ebirisibwamu nebinywerwamu nga byelongoosa byoka byanguya obutaddugaza mere n‘amazzi.

Okuzekebejja oluberera okusobola okulaba obulwadde nga bukyali. Nga tonatandika kulunda nkoko, kikulu okufuna omusomo ku kumanya obulwadde n‘enzijjanjaba.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:54Okwewala endwadde kikulu nnyo mu kulunda ebinyonyi.
00:5501:28Funa ekiyumba nga ebinyonyi tebirinya mu kalimbwe.
01:2902:09Okwemanyiza okukozesa enkola eyokumalamu zonna omulundi gumu.
02:1002:34kugoberera enkola ey‘okugemesa nga ogigenderako.
02:3503:30Okukuuma obuyonjo obwawaggulu.
03:3104:04Okuzekebejja oluberera.
04:0504:24Okufuna omusomo ku kumanya obulwadde n‘enzijjanjaba nga tonatandika kulunda.
04:2504:42Okufundikira

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *