»Engeri y‘okukolamu ekigimusa okuva mu nsiringanyi ku faamu yo.«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=2-fSmPRIBEI&list=RDCMUCGLRDV5V1lCefotYPFCaG4g&index=6

Ebbanga: 

00:03:38

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2019

Ensibuko / Omuwandiisi: 

East-West Seed Knowledge Transfer
»«

Omutindo gw‘ekigimusa gwegusalawo omutindo gw‘ebifulumizibwa n‘obungi bwa makungula.

Ekigimusa ekikolebwa okuva mu nsiringanyi kigattibwamu ebika eby‘enjawulo eby‘ensiringanyi okusobola okufuna ekigimusa ekiri ku mutindo wabula binakavundira byonna ebiriwo bisobola okweyambisibwa mu kukola ekigimusa okuva mu nsiriganyi.

Enteekateeka y‘ekigimusa okuva mu nsiringanyi.

Ekifo ky‘ekigimusa ky‘ ensiringanyi eky‘omutindo kiteekebwateekebwa mu bugazi bwa 1-5ms era n‘ekijjulizibwa nenakavundira. Okufukirira kukolebwa okusobola okukuuma ekifo nga kiwewevu.

Eky‘okubiri kiro emu ey‘ensiringanyi (African night crawlers)egatibwa mu kifo okumenyamenya nakavundira okusobola okufuna ekigimusa eky‘ensiringanyi ekirungi.

Bwomaliriza okugattamu ensiringanyi, ekifo kibikkibwa okukakasa nti empewo eyitamu bulungi. Wabula weewale okubikka ekifo n‘akaveera okukendeeza ku muliro n‘emika n‘ekirala weewale ebikozesebwa ebisikiriza enkuyege era okebeere obunyogovu buli ddakiika.

Okukungula ekigimusa ekikolebwa mu nsiringanyi.

Ekigimusa ekikolebwa okuva mu nsiringanyi kikungulwa oluvanyuma lw‘omwezi gumu era kungula ng‘ovira ddala waggulu. Kungunta nga bwoyawula ensiringanyi n‘ebitamenyeddwamenyeddwa awo bizzemu mu kifo.

Entereka y‘ekigimusa ky‘ensiringanyi n‘enkozesa.

Ng‘omaze okukungula, kikozese mu bwangu ddala oba okitereke kikole nga ekyongera ku bugimu oluvanyuma lw‘okukikaza. Mu dda obungi obuteekebwa ku kirime businzira ku kika ky‘ekirime n‘entabula y‘ekigumusa era kisinga kweyambisibwa ng‘oteekateeka ettaka eririmibwamu endokwa.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:16Ekigimusa ky‘ensiringanyi kyeyambisibwa ensiringanyi okukola ekigimusa ekikoleddwa okuva mu butonde.
00:1700:22Kozesa nakavundira ez‘obutonde eziriwo.
00:2300:45Tegeka ekifo aw‘okuteeka ekigimusa era ogattemu nakavundira ez‘obutonde.
00:4600:58Fukirira ekifo era okikebeera buli ddakika. Gattamu kiro emu mu kifo ekyo.
00:5901:10Ensiringanyi zirya nakundira ow‘obutonde ,nezimumenyamenya okufunamu ekigimusa ky‘ensiringanyi.
01:1101:27Bikka ekifo nga kisobole okuyingiza empewo obulungi era weewale okubikkisa akaveera.
01:2801:38Teekateeka omukebe nga weyambisa ebisigalira by‘omufumbiro.
01:3902:06Weewale okukozesa ebintu ebisikiriza enkuyege era okebeere n‘obungi bwa mazzi buli lukya.
02:0702:24Kungula ekigimusa kino nga otandikira waggulu kuba kiba kituuse oluvanyuma lw‘omwezi.
02:2502:46Kungunta ekigimusa ky‘ensiringanyi era okikozese amangu ddala oba okitereke kikole nga ekyongera ku kigimusa.
02:4702:50Kaza ekigimusa ky‘ensiringanyi nga tonakitereka.
02:5102:55Ekigimusa ky‘ensiringanyi kirimu ebirungo ebiyamba ekimera.
02:5603:09Obungi bw‘ekigimusa businzira ku kika n‘ebigimusa ebyeyambisiddwa mu kukola ekigimusa ky‘ensiringanyi.
03:1003:27Ekigimusa ky‘ensiringanyi kisobola okutabulwa nekiteekebwa mu ndokwang‘ekigimusa.
03:2803:38Mu bufunze.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *