Emmere esobola okuba eweebwa obyennyanja nga bikyali bitto, ebiweebwa nga bikula oba oba ebiweebwa oluvannyuma nga bimazze okukula.Emmere etandiikirwako okuweebwa obwennyanja obutto erina okuba nga erimu ekiriisa ekizimba omubiri nga kyamannyi.Ku mmere ekuzza, ekipimo ky’ekiriisa kinno ekizimba omubiri kirina okuba nga kyekyo ekyabulijjo ekiweebwa ebyennyanja ate emmere ebiwebwa nga bikuze erina okuba ng’erimu ekiriisa ekiwa amaannyi nga kingi kubanga kiyamba ebyennyanja okufuna obuzitto.Emmere gy’owa ebyennyanja gyewekoledde weba tesekuddwa bulungi eyinza obutagyayo kyoyagala.
Ebiteekebwa mu mmere ekolebwa
Soya alina okubamu ng’okola emmere y’ebyennyanja binno, ono alimu ekiriissa ekizimba omubiri kku kipimo kya bitundu 40 ku 48 ku buli kikumi okusinzira ku bungi ne kumutindo.Obukutta bw’omuwemba bwo bulimu ekipimo kya ebitundu 20 okutuuka ku 38 ez’ekirungo ekizimba omubiri n’ekiriisa ekiyamba ku nkuba y’emmere mu lubutto nga kiri ku bitundu 15 kubuli kikumi naye tetwetaaga nnyo bukutta bwa muwemba.Ebikolebwa okuva mu muwemba birimu ekiriisa ekizimba omubiri ku kipimo kya bitundu 13 paka ku 16 kubuli 100.
Ebisigalira ku “biscuit” birimu ekiriisa ekyongera amannyi ku kipimo kya 23 ku buli kikumi era n’ekizimba omubiri kitono.Ebisigalira binno bikola bulungi nnyo obwennyanja nga bukyali butto ng’ekiriisa ekibuwa amannyi.Ebisigalira ku mugaati birimu ekiriisa ekireeta amannyi ku kipiimo kya 13 okutuuka ku 24 kubuli kikumi.
Emmere y’omusaayi erimu erkiriisa ekiziimba omubiri ku kipimo ekiri wakati wakipimo kya 80 ku 85 kubuli kikumi ng’ekiriisa ekiyamba ku nkuba y’emmere kitono ddala.Kinno kikyukakyuka okusinzira ku bungi bw’omusaayi gw’ofunnye.
Muwogo alina ekiriisa ekireeta amaannyi kingi ku kipimo kya 94.4 kubuli kikumi.Naye ekiriisa kinno kiyinza okwonoona amazzi wekiba ekingi ennyo.Kozesa muwogo ekidiba kyo wekiba ekisime wabula tokozesa ettundubaali oba ekidiba ekirimu enkokoto.
Kasooli alimu ekiriisa ekireeta amannyi ku kipimo kya 70 ku 73.4 kubuli kikumi n’ekiriisa ekizimba omubiri ku kipimo kya 8 ku 11 ku buli kikumi.Entungo erimu ekiriisa ekireeta amannyi kingi n’ekigezza kittono.Emmere y’ebyennyanja erimu ekiriisa ekizimba omubirii ekiri ku kipimo kya 60 ku 72 kubuli kikumi okusinziira ku byennyanja by’okozeseza era ekiriisa ekireeta amannyi ku kipimo kya 3 ku 4’5 kubuli kikumi.