»Tekinologiya akozesebwa mukusimba omuwemba nga enkuba emaze okutonya«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=TWOzWUxo69c

Ebbanga: 

06:51:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

ICAR-IIMR Millets
Mukubeera eky'omugaso, obungi n'omutindo gw'omuwemba bisalibwaawo omutindo gw'ensigo z'omuwemba wamu nenkola y'okulima. Omuwemba kyekimera eky'okutaano mu birime byempeke munsi ezikula era gulimibwa mu biseera eby'enkuba ey'ekigero wamu nemukyeeya. gulimibwa mubiseera byombi eby'enkuba wamu nenkuba nga eweddeyo. Guvaamu emere enkalu eri ebisolo ebikola emirimu mubulimi obulimu n'obulunzi.

Crop advantages

Obulimi bw’omuwemba

Omuwemba gulimibwa nga amazzi gakigero muttaka n’amakungula gamirundi musaanvu mu yiika kkumi na nnya. Kino kikolebwaokuyita mukulonda ettaka erizita oba eritali zzito nnyo oluvanyuma lw’okukungula ebirime ebigatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka. Teekateeka ettaka nga osima emifureje 2 era obuweweevu bukuumibwa mukulima.
Eky’okubiri teeka ensigo mu ddagala nga weyambisa epipa omuteekebwa ensigo neddagala okusobozesa ensigo okulifuna kyenkanyi okusobola okuzikuuma okuyita mukiseera ky’okumera nga teziririddwa. Simba kilo zensigo 10 mubuli yiika kkumi na nnya. Emifuleje gisimibwa nemuteekebwaamu ebigimusa nga okozesa ekyuuma ekisiga wamu n’okuyiwa ebigimusa okusobola okufuna amabanga agafaanagana ga 45x45cm y’ebimera.
Mukw’eyongerayo gatamu kilo 40 ez’ebigimusa bya nitrogen era ne kilo 20 eza potassium mubuli yiika kkumi na nnya nga ebigimusa ebiteekebwa mu ttaka mukusiga era ofuuyire eddagala eritta omuddo nga ebirime tebinaba kumera nga w’akasimba. Emera tangira omuddo oluvanyuma lwennaku 25-30 era otangire ebitonde eby’onoona ebirime nga ofuuyira. Ekirime kimala ebanga lyan nnaku 110-120 wabula gukungulwa nga gwengedde ennaku 15 okutuuka ku kiseera mweguyina okukulira.

Emigaso gy’ekirime

Ensigo z’omuwemba zikozesebwa nga emere ate nga ensaano ekozesebwa mukukola chapati, obuugi, mukufumba emigaati era nga emere eri ensolo. Era kikozesebwa munkola ey’okulima nga bw’olunda ekimera kyokka bwekikungulwa olwo ekikolo nekiterekebwa okukozesebwa mubiseera eby’omumaaso.
Ekisembayo, ate neera gukozesebwa nga emere, eby’okulya, era nga ekimera ekiyina emigaso emingi.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:15Omuwemba gulimibwa mukiseera ekitaliimu nkuba nga enkuba ntono wamu nemukyeeya.
00:1600:20Gulimibwa mubiseera byombi munkuba wamu n'oluvanyuma lwenkuba nga eweddeyo.
00:2100:42Kyekirime eky'okutaano mubirime by'empeke munsi ezikula.
00:4300:51Gukozesebwa nga emere enkalu eri ebisolo ebikola emirimu mukulima.
00:5201:29Omuwemba gulimibwa ku ttaka omuli amazzi.
01:3001:34Londa ettaka ezito oba eryo eritali zito bulungi oluvanyuma ly'okukungula ebirime ebigatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka.
01:3501:44Teekateeka ettaka nga osima emifureje 2 era obuweweevu bukuumibwa mukulima.
01:4502:11Ebika by'omuwemba mulimu, phuleyeshoda, parbanimoti and CSH15R.
02:1202:50Teeka eddagala mu nsigo nga weyambisa ekyuuma ekikozesebwa n'emikono era osimbe.
02:5103:16Emifuleje gisimibwa nemuteekebwaamu ebigimusa nga okozesa ekyuuma ekisiga wamu n'okuyiwa ebigimusa.
03:1703:29 Ensigo ziwe amabanga ga 45x45cm era ogatamu kilo 40 ez'ebigimusa bya nitrogen era ne kilo 20 eza potassium nga ebigimusa ebiteekebwa mu ttaka mukusimba.
03:3004:08Fuuyira eddagala eritta omuddo nga ebirime tebinaba kumera nga w'akasimba. Tangira omuddo oluvanyuma lwennaku 25-30 wamu n'okufuuyira ebitonde eby'onoona ebirime.
04:0904:31 Ekirime kimala ebanga lyan nnaku 110-120 wabula gukungulwa nga gwengedde ennaku 15 okutuuka ku kiseera mweguyina okukulira.
04:3204:43Ensigo z'omuwemba zikozesebwa nga emere ate nga ensaano ekozesebwa mukukola chapati.
04:4405:09Ate era gukozesebwa mukukola obuugi, mukufumba emigaati era nga emere eri ensolo.
05:1005:24Era gukozesebwa munkola y'okulima nga bwolunda awo ekirime kyona kikungulibwa.
05:2506:29Enduli ziterekebwa okusobola okukozesebwa mubiseera by'omumaaso oba okukozesebwa butereevu nga emere yensolo.
06:3006:44Omuwemba gukozesebwa nga emere y'ensolo, emere, omuddo era nga ekirime ekiyina emigaso emingi.
06:4506:51Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi