Mu kukuuma eby‘obulimi n‘obulunzi osobola akwongera ku by‘ofuna mu.
Abalimi n‘abalunzi bazuula nti byebafuna mu kulima n‘okulinda bitandise okendera era nga bitono ettaka nga likendedde obujimu. Osoboola okozesa obukuumi bweby‘obulimi n‘obulunzi okusobola okwewala ettaka ebbi. Kinno ky‘esigama ku ndowooza ssattu: 1.Olina okwewala bulijjo okutawannya ettaka osobole okwewala ettaka ejjimu okwerebwako. 2. Olina okukyusakyusa ebimmera n‘ebilime ebireeta ekiriisa kya nitrogen, ekiyamba ettaka okufuna ekiriisa ekyo ekya nitrogen. 3. Olina okufuna ekibika ettaka , okusobola okwewala ettaka okubeera nga lyerere ng‘amakungula gawedde.
Okukuuma eby‘obulimi n‘obulunzi.
Mukutandika, sima ebinnya bitono eby‘okusimba mu.
Kakasa nti obikuuma buli mwaka. Ebinnya bilina okuba nga obugazi bwa sentimita 15 , sentimita 30 mu buwanvu ne sentimita 15 wansi. Lekawo akabanga ka sentimita 70 makati g‘ebinnya ne sentimita 90 makati ga buli lunyiriri.
Osobola okuyiikuula ewalimibwa nga teweyambisiza nte zirima. Okuyiikuula ettaka kutegeeza kutinkuula ttaka nga tolikabadde.N‘olwekyo , otawannya ettaka ng‘oteeka mu line z‘okutinkula . Ebbanga eriri mmakati terikwatibwako. Kinno kiviirako enkola y‘ettaka ennunji era ebijimusa bisigala ewalimibwa mu kiseera ky‘ekimu. Oluvannyuma lwakinno teeka ebijimusa mu nnyiriri ezitinkuddwa era ozibike nettaka . Osobola okutandika n‘okutegeka ewalimibwa mu biseera eb‘olukalu okusobola okukakasa nti ebimmera bikula mangu mu nkuba ennyinji.
Kyusakyusa ebimmera buli mwaka.
Ekintu ekirala ekiri mu kukuuma eby‘obulimi n‘obulunzi kwekukyusakyusa ebimera buli sizoni okusobola okendeza obuwuka n‘endwadde n‘okukuuma ettaka nga lijjimu. Okugeza, oluvannyuma lw‘okukungula kasooli olina okulima ebimera ebirimu ekirungo kya nitrogen nga soya oba ebinnyebwa nemu sizoni endala ebimmere eby‘okutunda nga pamba.
Bikka ettaka n‘omuddo okuma omwaka. Kinno kisobola okuyammba ettaka obutayerebwa nkuba y‘amannyi. Mukaseera akagere ebibikiddwa ku ttaka bivunda nebifuuka ebijimusa ebireetera ettaka okuba ejjimu.
Engeri endala kwekusimba emitti ku faamu. Emitti ejiyitibwa Faidherbia jifuna ekiriisa ekya nitrogen okuva mu mpewo ne gigiteeka mu mirandira gy‘ebimmera. Emitti gi faidherbias era giyitibwa emitti egigimusa . Mu sizoni ey‘okukula ebikola bya gyo bigwa wansi nebiwa ettaka ekiriisa.
olw‘okugwa kw‘ebikoola ku ttaka ,ekitangala okuva mu kasana kisobola okumulisa ebimmera. Emirandira emiwanvu egy‘emitti ginno giwanvuyira ddala paka ku mazzi agawansi , n‘olwekyo tekyetagisa biriisa kuva ku ttaka ery‘okungulu.