Enkonko ezisimiddwa wakati mu nnimiro ng‘ettaka liteekeddwa waggulu w‘ekinnya zongedde ku mutindo mu ndabirira y‘ettaka n‘amazzi. Okulima kufuuka kwangu ng‘enkonko zisasaanyiziddwa okuteeka ettaka ku level ate bwe liteekebwamu ekigimusa amagoba geeyongera.
Zino zikozesebwa nnyo abalimi abalina ettaka ly‘okubuserengeto okuyamba okukuuma amazzi n‘okwewala mukoka w‘ettaka.
Okuzimba
Ettaka lirimibwa okuva mu mifulejje nga likasukibwa waggulu okukola obugulumu obulina obuwanvu bwa sentimita 40 ku 50 era nga bweyawudde sentimita nga 10 ku 20 okusinziira ku bugulumivu kw‘ennimiro. Okuzimba n‘okukuuma kukolebwa ng‘okozesa ebikozesebwa eby‘engalookukuuma obuwanvu bw‘obugulumu.
Oluvannyuma lw‘akabanga ettaka wakati w‘obugulumu butuuka ekiseera ne bubeera ku mutendera gumu n‘okutegeka ettaka ly‘okusimbamu ebirime. Embalama enseeteevu zisobola okufunibwa. Omuddo gusimbibwa ku nkonko okukuuma embalama. Okukasuka ettaka ku nkonko kyetaagisa okukuuma obuwanvu bw‘enkonko.
Mu biseera by‘enkuba ey‘amaanyi, ebisagazi bisimbibwa kubanga biwa emmere y‘ebisolo. Amenvu gakula nnyo mu budde obuweweevu wansi w‘enkonko.
Emiganyulo
Enkonko ezisimiddwa wakati mu nnimiro ng‘ettaka liteekeddwa waggulu w‘ekinnya ziyamba okukuuma obuweweevu n‘okwewala mukoka w‘ettaka olwo ne kigumya n‘okwongera ku makungula g‘ebirime.
Emiti nga emiyembe, amapaapaali n‘omuti gw‘ekika kya Grevillea robusta ogukola emirimu egy‘enjawulo, gisimbibwa wamu n‘enkonko ezisimiddwa wakati mu nnimiro ng‘ettaka liteekeddwa waggulu w‘ekinnya.
Enkonko ezisimiddwa wakati mu nnimiro ng‘ettaka liteekeddwa waggulu w‘ekinnya zikakasiddwa okuba engumu era zigumira enkyukakyuka y‘obudde. Enkonko ezisimiddwa wakati mu nnimiro ng‘ettaka liteekeddwa waggulu w‘ekinnya zeesigamizibwako abalimi abalima ekitono mu buvanjuba bwa Kenya.