Omutindo n’obungi bw’amakungula mu nnimiro bifunibwa nga tuyita mu kutuukiriza enkola z’okulima ezirambikiddwa.
Tukimannyi nti embeera y’obudde embi,ebiwuka ,endwadde n’ebitonde eby’onoona ebirime byabulabe nnyo eri ebirime,omuddo ogwonoona ebirime gunno gukulira wamu n’ebirime era gutwala ebiriisa byomuttaka ,omuddo gunno guvugannya n’ebirime ku kitangaala n’amazzi.
Endabirira y’ebirime
Mukusookera ddala ,okusobola okufuna amakungula amalungi,omuddo ogwonoona ebirime gugibwa mu nimiro mu kaseera k’okutegeka ettaka okugenda okusimbwa ebirime ne ku mutendera ogw’oluvannyuma gugibwamu n’engalo oba n’eddagala erifuuyirwa eritta omuddo .
Omuddo gukuulibwa mu nnimiro ng’ebirime tebinamulisa ne mu kusimba.
Mu ngeri yemu nga mu makungula mulimu okusala ebirime nga bimazze okukula omuddo gugibwa mu na ngalo oba n’ekyuma ekikozesebwa mu ku kungula .
Olwo ku mutendera gw’okukongola, emmere y’empeke eyawulwa ku kitundu ky’ekirime kw’ekulira.
Mu kufundikira,ng’ebyo byonna biiwedde ,emmere y’empeke eba etuuse okuterekebwa.