Olutambi lunno “Omuddo oguwumbye (silage) okuva mu kasooli” lunyonyola engeri yokukolamu omuddo okuva mu kasooli nga okuuma ebiriisa.
Okuberawo kw’omuddo gwa kiragala
Omuddo ogwa kiragala guberawo mu mutindo ogw’enjawulo sako n’obungi obwenjawulo. Gwetagibwa okuliisa ente, zisobole okubeera ezamanyi wamu nokuvaamu amata. Abalunzi bangi bawa ebisolo byabwe emere y’empeke wamu nemere entabule nga ebyokulikiriza wadde nga bya beeyi. Okusobola okukuuma ebiriisa mu muddo ogwa kiragala okumala omwaka olina ku guwumbisa (kukola silage).
Okuwumbisa
Nga temuli mpewo wadde, ebisolisoli ebitemeddwa obulungi biwumba nga tebivunda. Kino kiri bwekiti kubanga obuwuka obutono ennyo bulya sukaali ali mu muddo nebukola lactic acid, akola nga ekirungo ekikuuma ebintu obutavunda ekyobutonde. Okuwumba kwanguyiza ente okugaya sitaki n’ebiwuzi.
Okukola silage (omuddo oguwumbye)
Kulayo ekikolo kya kasooli kyona nga eminwe gikuze bulungi naye nga ekikolo kikyali kya kiragala. Mu mbeera eno eminwe gibaamu sukaali nga mukulu nnyo mu kukola embumbu. Kakasa nti kasooli omutemera kumbi n’ente era nga mu sawa nto okutaasa obudde.
Osobola okusala omuddo n’engalo oba n’ekyuma ekitema ebitundu ebyenkanankana. Cm 1 ku 2 zezisinga okwanguyira ente okugaya.
Kasooli gwotemyetemye mukanganyizewo omuteekere ddala mu kifo, wogenda okukolera silage. Bwoleka ksooli omutemeteme ku mpewo okumala ebbanga ajja kubuguma era ayononeke.
Yalirira omuggo mutonotono ogw’ebisolisoli ku bulangiti oba ekiveera ekyakozesebwako . Okwewala ebituli by’empewo, gatalira omuddo buli luvanyu lwa muteeko.
Bwobera omazze, bikka entumu nga okozesa ekivera ekikaluba. Olwo ogateko wakiri 20cm ez’omusenyu ku ngulu kw’ekiveera. Zibikira ensonda nga okozesa entindiro oba ebintu ebizitowa okukakasa nti silager tayingiramu mpewo.