Ekika ky‘obutiko ekya kiragala ekiyitibwa Azolla kirimwa mu mazzi agalegamye oba ekidiba. Kirungi ku balunzi be by‘ennyanja, ebinnyonyi n‘ebisolo.
Obutiko buno obwa kiragala obuyitibwa Azolla bulimu ekirungo ekizimba omubiri, ekya vitamini A, B ne C n‘ebiriisa. Obutiko buno bwetaagisa ebitekebwamu nga bitono. Omuntu yeetaaga ekidimba kimu , ekigimusa ekikoleddwa okuva mu butonde mpozzi n‘endokwa z‘obutiko bwa kiragala obwa Azolla. Okuzimba ekidiba kyetaagisa nga sillingi za Kenya 4000
Ennima y‘obutiko bwa kiragala obuyitibwa Azolla
Twala obutiko bwa kiragala obuyitibwa azolla obukuze mu kidiba ekipya ekirimu ebigimusa munda. Byanjale byonna ku kidiba. Bireke okumala ennaku 14 bisobole okukula. Obutiko buno obwa kiragala obuyitibwa Azolla bukungulwa buli wiiki. Omuntu ayinza okubukungula kiro wakati wa 10 ku 15 buli wiiki. Buli kiro etundibwa sillingi 50 eze Kenya.
Buli luvanyuma lwa wiiki bbiri gattamu ebigimusa ebikoleddwa okuva mu butonde bisobole okuwangaala okumala emyezi munaana.
Longoosa ekidiba. Oluvanyuma lw‘okulongoosa ekidiba teekamu obutiko obwa kiragala obuyitibwa Azolla.
Emigaso gy‘obutiko obwa kiragala obuyitibwa Azolla
Kyongera ku bungi bw‘ensolo.Obutiko obwa kiragala buno obuyitibwa Azolla bulimibwa waka ate teyetaaga kulabirira nnyo.
Omuntu asobola okubulimira ku ttaka ettono.
Ebisomooza
Ebisumbuwa obulimi bw‘obutiko obwa kiragala obuyitibwa Azolla mulimu ebiwuka, ebikere, obukulwe ebitandika okuyingira mu kidiba olwa mazzi agalegamye.Okukendeeza okulumbibwa kwebyo ebitawanya omunt alina okuzimbawo ekikomera okwetoloola ekidiba