Mu nkola y’okwongera omutindo ku by’obulimi nga beeyambisa tekinologiya ow’enjawulo, abalimi beetaaga okumanya ebiteekebwamu ebyetaagisibwa, wa webyetaagisa, bipimo ki ebyetaagisa ne ddi webyetaagisibwa.
Mu kwongera omutindo ku by’obulimi n’obulunzi nga weyambisa tekinologiya kyetaagisa okufuna obubaka obwetaagibwa okuva mu bintu n’ebifo eby’enjawulo mu nnimiro okugeza ebirungo by’omuttaka, ebiwuka n’omuddo ogwonoona ebirime ebiriwo, omutendera gwa langi ya kiragala mu bimera, ebiteekebwamu ebikozeseddwa, n’entebereza y’obudde. Bwomala okukunganya obubaka bwonna buno era bulina okwekenneenyezebwa omulimi okusobola okufuna ebyo ebikakkasiddwa mu ndabirira y’ettaka mu budde.
Ebibi ebiri mu kweyambisa enkola y’okwongera omutindo ku by’obulimi n’obulunzi nga beyambisa tekinologiya ow’enjawulo
Abalimi balina okuba n’ebiteekebwamu ebyetaagisa n’okusobola okuteeka mu nkola ebyo ebikakkasiddwa naddala mu nnimiro.
Okwongera omutindo ku by’obulimi n’obulunzi nga beyambisa tekinologiya byetaagisa ensimbi eri abalimi abalimira mu kifo ekitono ne kineneko. Abalimi tebasobola kugula byuma byetaagisa, amagezi ag’okukozesa ebyuma n’ensimbi okupangisa omuntu amanyi okukozesa ebyuma.
Oluusi ebyeyambisibwa ebyetaagibwa tebibaawo oba tewaba yintanenti oba abakozi abatendeke tebabaawo.
Emitendera egigungiddwawo okukendeeza ku bizibu.
Obwangu mu kukozesa obuuma obwekengera okupima obungi bwa mazzi mu ttaka, olunnyo n’ebirungo ebirimu. Emikutu emyangu egitambuza obubaka obukunganyiziddwa amangu obuuma obwekengera mu nnimiro mu kifo ekyawamu webukunganyizibwa n’okunoonya amagezi ku ngeri y’okweyunga ku yintanenti.
Okufuna obubaka obuli ewala nga beeyambisa ebifaananyi ebikubiddwa ebyuma bya satelite okumanya obulamu bw’ekimera mu ngeri y’okunoonyereza nga tekyetaagisa balimi kumanya ngeri y’okukozesamu kyuma oba okutaputa obubaka obuzibu.