Okulunda embuzi kufuuse kwa bulijjo mu balunzi abalunda ensolo entonotono mu bitundu eby‘ebyalo n‘eby‘ebibuga mu Kenya. Amata g‘embuzi gagenda gakwata abanywi baago omubabiro olw‘emiganyulo gye galina naddala ku bulamu bw‘abantu.
Okwongera omutindo kwe kulongoosa ebintu nga bwe biri mu butonde nga oyongera ku butuukire bwabyo okuliibwa abantu abaluubiriddwa okubirwa. Abalunzi b‘embuzi kati balongoosa amata g‘embuzi okugafuula amalungi okunywerawo n‘okugaterekera ebbanga, okugafunamu yogati n‘omuzigo. Amata gakungaanyizibwa okuva mu balunzi era omutindo gwago gukeberwa okukakasa nti gaakakamibwa era tegaliimu kantu konna.
Okukebera amata
Kebera amata okukakasa nti ga mutindo era nti tegaliimu kantu konna, ku nkomerero gafunibwemu ebintu ebirungi.
Kebera oba amata k‘embuzi gagattiddwamu ag‘ente. Akakebera bwe kalaga obukoloboze bubiri okuli aka bbulu n‘akamyufu, kitegeeza mulimu ag‘ente. Akakebera bwe kaba kalaga olukoloboze lwa bbulu lwokka, awo temubeeramu ga mbuzi.
Kebera obuwuka mu mata okakase oba amata galimu amazzi oba ebyongeddwamu ebirala. Kebera oba amata gagattiddwamu eddagala eritta obuwuka. Obukoloboze bwe buba tebulabika bulungi awo amata gabeera galimu eddagala eritta obuwuka.
Okulongoosa amata
Akeekenneenya amata kakozesebwa okuzuula ekipimo amata kwe gakwatira bbalaafu, amazzi agagalimu, amasafu n‘ekipimo ky‘olunnyo. Kebera oba mulimu ekirungo kya Hydrogen peroxide ekikozesebwa okukuuma amata obutafa.
Yiwa amata mu kipipa gasindikibwe we galongoosezebwa we gafuulirwa amalungi okunywa era amaweweevu. Ebipipa ebiweweeza bikozesebwa okutereka amata agafisse aganaakozesebwa gye bujja.
okutta obuwuka mu mata gafuuke malungi okunywa era agaterekebwa okumala ebbanga
Oluvannyuma lw‘okutta obuwuka mu mata era nga gasobola okuterekebwa okumala ebbanga eddeneko, kakkanya ebbugumu ly‘amata ago ku kipimo ekikka wansi wa ddiguli kkumi. Amata g‘embuzi gayita mu mitendera mingi nga gafuulibwa amalungi okunywa era agasobola okuterekebwa okumala ebbanga, okugakolamu yogati n‘omuzigo. Tendeka abalunzi okulaba nga tebagatta bintuntu mu mata ga mbuzi.
Amata g‘embuzi galina emmere ey‘enjawulo ezimba omubiri n‘amasavu era nsibuko nnyngi nnyo ey‘ekiriisa kya vitamiini. Mu butonde bwago galina amasavu amabi matono.