Buli mukozi w‘akipooli ayina okubeeranga akakasiddwa ekitongole kya Kenya ekivunaanyizibwa kumutindo. Kino kwekukakasa nti buli kipooli kituufu okuliibwa abantu.
Nga tonatandika kukola kipooli, abakozi bayina okukuuma obuyonjo nga banaaba mungalo wamu n‘okwesabika okusobola okuziyiza okw‘okebwa singa biba biyiise. Ebikozesebwa biyina okulongosebwa okuziyiza okw‘ononeka kw‘ekipooli. Ekipooli ekikolebwa tekiriimu munyo yadde sukaali, temuli buto ayongeddwaamu yadde ebirungo ebyongera kubuwangaazi. Obulungi bw‘ekipooli bukakasibwa okuyita mukulekawo ebanga waggulu kubuli mukebe.
Emigaso gy‘ebiriisa
Ekipooli kirimu ekirungo kyebiguwaguwa era kiyambako mukukuba emere, kiyamba okuziyiza omusaayi okudduka ennyo, era mulimu buto omulungi kubw‘obulamu eri omutima era mulimu ekirungo ekizimba omubiri.
Kyamugaso okutereka ekipooli obulungi. Kikubirizibwa okukitereka mukifo ekiweweevu nga kikalu awatali musana butereevu kubanga singa kibuguma kireeta obuwuka . Kuuma ekisanikira nga gigale okusobola okuziyiza obuwuka wamu n‘amazzi okuyingira.
Enkwatagana y‘abalimi
Okukwatagana n‘abalimi abalima ebinyeebwa mubyaalo kiyamba nnyo mukutandikawo okukola ekipooli. Abalimi basobola okukuguza ebinyeebwa era okuyita mumitendera oluvanyuma mwena muba mufunamu mubudde bwebumu.
Omulimu nga gumaze okukula, osobola okuteekako abakozi n‘obagabira emirimu osobola okussa esira kubintu eby‘omugaso ennyo mukukola ekipooli.